1
Abafiripi 1:6
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Nkakasiza ddala nti oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe, aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Kristo Yesu.
Compare
Explore Abafiripi 1:6
2
Abafiripi 1:9-10
Mbasabira nti okwagala kwammwe kweyongerenga, era mujjule amagezi n’okutegeera, mulyoke mulonde ekisinga obulungi, olunaku lwa Kristo bwe lulituuka lubasange nga muli balongoofu abataliiko kamogo
Explore Abafiripi 1:9-10
3
Abafiripi 1:21
Nze mba mulamu lwa Kristo era ne bwe nfa mba ngobolodde.
Explore Abafiripi 1:21
4
Abafiripi 1:3
Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira
Explore Abafiripi 1:3
5
Abafiripi 1:27
Naye kirungi obulamu bwammwe bubeerenga nga bwe kisaanira Enjiri ya Kristo; ne bwe ndijja oba ne bwe sirijja kubalaba, mpulire nti muli banywevu era mwegasse mu mwoyo gumu, nga mulwanirira okukkiriza okw’enjiri n’emmeeme emu.
Explore Abafiripi 1:27
6
Abafiripi 1:20
Neesiga era nsubirira ddala nti sijja kuswala mu nsonga n’emu, wabula ne kaakano nzija kuguma nga bulijjo, Kristo agulumizibwe mu mubiri gwange, oba okuyita mu bulamu oba okuyita mu kufa.
Explore Abafiripi 1:20
7
Abafiripi 1:29
Kubanga mwaweebwa omukisa, ku lwa Kristo, si mu kumukkiriza kyokka, naye n’okubonaabona ku lulwe.
Explore Abafiripi 1:29