1
Okubala 14:9
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Kyokka temujeemera MUKAMA Katonda, era n’abantu b’omu nsi omwo temubatya, kubanga kuliba kumenya mu jjenje kkalu; tebakyalina abakuuma, ate nga MUKAMA Katonda ali wamu naffe. Temubatya.”
Compare
Explore Okubala 14:9
2
Okubala 14:18
‘MUKAMA Katonda alwawo okusunguwala, era ajjudde okwagala okutaggwaawo, era asonyiwa ekibi n’obujeemu. Naye era asingiddwa omusango tamuleka nga tabonerezebbwa; abonereza abaana olw’ebibi bya bakadde baabwe okutuuka ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna.’
Explore Okubala 14:18
3
Okubala 14:8
MUKAMA Katonda bw’aliba atusanyukidde, alitukulembera n’atutuusa mu nsi eyo, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, era agenda kugituwa.
Explore Okubala 14:8
4
Okubala 14:24
Naye olwokubanga omuweereza wange Kalebu alina omwoyo ogw’enjawulo era ng’angoberera n’omutima gwe gwonna, ndimuleeta mu nsi gye yatumibwamu, n’ezzadde lye lirigirya.
Explore Okubala 14:24
5
Okubala 14:28
Bategeeze nti, ‘MUKAMA agambye nti, Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera MUKAMA Katonda, ebyo bye mpulidde nga mwogera, nange bye ndibakola.
Explore Okubala 14:28
6
Okubala 14:11
MUKAMA n’agamba Musa nti, “Abantu bano balinnyooma kutuusa ddi? Balikomya ddi obutanzikiririzaamu, newaakubadde nga nakola ebyamagero mu bubonero bwe nakolera mu bo?
Explore Okubala 14:11
7
Okubala 14:2
Abaana ba Isirayiri bonna ne beemulugunyiza Musa ne Alooni; abantu bonna awamu mu kibiina ne babagamba nti, “Singa twafiira mu nsi y’e Misiri! Oba singa twafiira mu ddungu muno!
Explore Okubala 14:2
8
Okubala 14:6-7
Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali mu abo abaagenda okuketta ensi, ne bayuzaayuza engoye zaabwe, ne bagamba ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, “Ensi gye twayitaayitamu okugiketta, nsi nnungi nnyo.
Explore Okubala 14:6-7
9
Okubala 14:21-23
Naye nno mu mazima ddala nga bwe ndi omulamu, era ng’ekitiibwa kya MUKAMA Katonda bwe kijjuza ensi yonna, tewalibaawo n’omu ku bantu abaalaba ekitiibwa kyange n’obubonero obw’ebyamagero bwe nakolera e Misiri ne mu ddungu, naye ne batagondera ddoboozi lyange wabula ne bangezesa nga bankema emirundi kkumi, tewalibaawo n’omu ku bo aliraba ku nsi eyo gye nalayirira bajjajjaabwe ne mbasuubiza okugibawa. Tewalibaawo n’omu ku bo abannyoomye aligirabako.
Explore Okubala 14:21-23