Awo Bezaaleeri n’akola Essanduuko mu muti gwa akasiya; ng’obuwanvu bwayo mita emu ne desimoolo emu, n’obugazi sentimita nkaaga mu musanvu, n’obugulumivu nabwo sentimita nkaaga mu musanvu. N’agibikkako zaabu omuka ennyo kungulu ne munda, era n’agyetoolooza omuge ogwa zaabu.