Abaana bammwe bwe balibabuuza nti, ‘Omukolo guno gutegeeza ki?’ Mulibaddamu nti, ‘Kino kye kiweebwayo eri MUKAMA eky’Okuyitako, kubanga yayita ku nnyumba z’Abayisirayiri mu Misiri, n’awonya amaka gaffe, bwe yatta Abamisiri.’ ” Awo abantu ne bavuunama ne basinza.