1
Abaefeso 6:12
Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
EEEE
Kubanga tetumeggana na mubiri wadde musaayi, wabula tulwanyisa abafuzi, n’ab’obuyinza, n’amaanyi ag’ensi ag’ekizikiza, n’emyoyo emibi egy’omu bifo ebya waggulu.
Compare
Explore Abaefeso 6:12
2
Abaefeso 6:18
nga musabiririranga mu ssaala zonna nga mwegayiririranga mu mwoyo buli kiseera. Mwekuumenga nga mugumiikirizanga, era nga mwegayiririranga abatukuvu, be bantu bonna aba Katonda.
Explore Abaefeso 6:18
3
Abaefeso 6:11
Mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwolekera enkwe za Setaani.
Explore Abaefeso 6:11
4
Abaefeso 6:13
Noolwekyo mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke musobole okwaŋŋanga omulabe ku lunaku olw’akabi, era bwe mulimala okukola byonna, mulyoke musigale nga muli banywevu.
Explore Abaefeso 6:13
5
Abaefeso 6:16-17
Era ku ebyo byonna okukkiriza kwammwe kubeerenga engabo eneebasobozesanga okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obulasibwa omubi. Obulokozi bubafuukire enkuufiira gye mwambadde, n’ekigambo kya Katonda kibabeerere ekitala eky’Omwoyo
Explore Abaefeso 6:16-17
6
Abaefeso 6:14-15
Muyimirire nga muli banywevu, ng’amazima lwe lukoba lwammwe lwe mwesibye mu kiwato kyammwe, ate ng’obutuukirivu kye ky’omu kifuba, nga mwambadde n’engatto mu bigere byammwe nga mugenda okubuulira Enjiri ey’emirembe.
Explore Abaefeso 6:14-15
7
Abaefeso 6:10
Eky’enkomerero, mubenga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge.
Explore Abaefeso 6:10
8
Abaefeso 6:2-3
“Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,” eryo lye tteeka erisooka eririmu okusuubiza nti: Bw’onoobanga obulungi, era n’owangaala ku nsi.
Explore Abaefeso 6:2-3
9
Abaefeso 6:1
Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga bwe mukola mutyo, mukola kituufu.
Explore Abaefeso 6:1