Nnyongera okubasabira, amaaso g’emitima gyammwe gamulisibwenga, mulyoke mumanye essuubi ly’okuyitibwa kwammwe, n’obugagga obungi bwe mulina mu ye, mmwe awamu n’abantu ba Katonda bonna. Njagala mutegeere amaanyi ge agasukkiridde agakolera mu ffe abakkiriza, ng’okukola kw’obuyinza bw’amaanyi ge bwe kuli, amaanyi ago ge yakozesa mu Kristo bwe yamuzuukiza mu bafu, n’amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo waggulu mu ggulu. Waggulu eyo, Kristo gy’afugira obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna, n’amaanyi gonna, n’obwami bwonna, na buli kitiibwa kyonna ekiweebwa omuntu. Afugira mu mulembe guno, era alifugira ne mu mulembe ogugenda okujja.