1
Okubala 20:12
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, “Olw'okubanga temuneesize okukola nga bwe nnabalagidde, okumpeesa ekitiibwa mu maaso g'abaana ba Isiraeri, kye muliva mulema okuyingiza ekibiina kino mu nsi gye mbawadde.”
Compare
Explore Okubala 20:12
2
Okubala 20:8
“Ddira omuggo ogwo, okuŋŋaanye ekibiina, ng'oli wamu ne Alooni muganda wo, mulagire olwazi olwo, bonna nga balaba, luveemu amazzi. Bw'otyo bw'on'obaggyira amazzi mu lwazi onywese ekibiina ky'abantu n'ebisibo byabwe.”
Explore Okubala 20:8
3
Okubala 20:11
Musa n'ayimusa omukono gwe, n'akuba olwazi n'omuggo gwe emirundi ebiri; ne muvaamu amazzi, abantu bonna ne banywa n'ebisibo byabwe.
Explore Okubala 20:11
4
Okubala 20:10
Musa ne Alooni ne bakuŋŋaanyiza ekibiina mu maaso g'olwazi, Musa n'abagamba nti, “Muwulire nno, mmwe abajeemu; tetuyinza ffe kubaggyira amazzi mu lwazi luno?”
Explore Okubala 20:10