1
Matayo 27:46
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Obudde bwe bwatuuka ng'essaawa ey'omwenda Yesu n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, ng'agamba nti, “Eri, Eri, lama sabakusaani?” Amakulu gaakyo nti, “Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza?”
Compare
Explore Matayo 27:46
2
Matayo 27:51-52
Laba, olutimbe olwali mu Yeekaalu ne luyulikamu wabiri okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n'ekankana; enjazi ne zaatika; entaana ne zibikkuka; emirambo mingi egy'abatukuvu abaali beebase ne gizuukizibwa
Explore Matayo 27:51-52
3
Matayo 27:50
Naye Yesu n'ayogerera nate waggulu n'eddoboozi ddene, n'ata omwoyo gwe.
Explore Matayo 27:50
4
Matayo 27:54
Naye omwami w'ekitongole, na bali abaali naye nga bakuuma Yesu, bwe baalaba ekikankano, n'ebigambo ebibaddewo, ne batya nnyo, ne bagamba nti, “Mazima ono abadde Mwana wa Katonda!”
Explore Matayo 27:54
5
Matayo 27:45
Awo okuva ku ssaawa ey'omukaaga kyali kizikiza ku nsi yonna okutuuka ku ssaawa ey'omwenda.
Explore Matayo 27:45
6
Matayo 27:22-23
Piraato n'abagamba nti, “Kale nnaakola ntya Yesu ayitibwa Kristo?” Bonna ne baddamu nti, “Akomererwe.” Piraato n'ababuuza nti, “Lwaki? Ekibi ky'akoze kiruwa?” Naye ne bakaayana nnyo, ne bagamba nti, “Akomererwe.”
Explore Matayo 27:22-23
Home
Bible
Plans
Videos