1
Matayo 13:23
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
N'oyo eyasigibwa ku ttaka eddungi, ye oyo awulira ekigambo, n'akitegeera; oyo abalira ddala ebibala, omulala aleeta kikumi (100), omulala nkaaga (60), n'omulala asatu (30).”
Compare
Explore Matayo 13:23
2
Matayo 13:22
N'oyo eyasigibwa mu maggwa, ye oyo awulira ekigambo; naye okweraliikirira ebintu eby'ensi, n'okulimbibwa eby'obugagga bizisa ekigambo, n'ekitabala.
Explore Matayo 13:22
3
Matayo 13:19
Buli awulira ekigambo eky'obwakabaka, nga takitegedde, omubi oyo ajja, n'akwakula ekisigiddwa mu mutima gwe. Oyo ye yasigibwa ku mabbali g'ekkubo.
Explore Matayo 13:19
4
Matayo 13:20-21
N'oyo eyasigibwa awali enjazi, ye oyo awulira ekigambo, amangu ago n'akikkiriza n'essanyu; naye olw'okuba talina mmizi munda mu ye, bw'alwawo akaseera katono; bwe wabaawo ennaku n'okuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangu ago yeesittala.
Explore Matayo 13:20-21
5
Matayo 13:44
“Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'eky'obugagga ekyakisibwa mu lusuku; omuntu kyeyalaba, n'akikweka; era olw'essanyu n'agenda n'atunda by'ali nabyo byonna, n'agula olusuku olwo.”
Explore Matayo 13:44
6
Matayo 13:8
Ensigo endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zibala emmere, endala kikumi (100), endala nkaaga (60), endala asatu (30).
Explore Matayo 13:8
7
Matayo 13:30
Muleke bikule byombi bituuse amakungula; mu biro eby'amakungula ndigamba abakunguzi nti Musooke mukuŋŋaanye eŋŋaano ey'omu nsiko, mugisibe emiganda eyokebwe, naye eŋŋaano yennyini mugikuŋŋaanyize mu ggwanika lyange.’ ”
Explore Matayo 13:30
Home
Bible
Plans
Videos