1
Malaki 3:10
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Muleete ekitundu eky'ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, bw'ayogera Mukama w'eggye, mulabe oba nga siribaggulirawo ebituli eby'omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga we guligya.
Compare
Explore Malaki 3:10
2
Malaki 3:11-12
Ndiziyiza ebiwuka obutazikiriza birime byammwe, so n'omuzabbibu gwammwe tegulikunkumula bibala byagwo mu nnimiro entuuko nga tezinnatuuka, bw'ayogera Mukama w'eggye. Era amawanga gonna galibayita ba mukisa, kubanga muliba ensi esanyusa, bw'ayogera Mukama w'eggye.
Explore Malaki 3:11-12
3
Malaki 3:17-18
“Era baliba bange, bw'ayogera Mukama w'eggye, ku lunaku lwe ndikolerako, baliba kintu kya nvuma; era ndibasonyiwa ng'omusajja bw'asonyiwa mutabani we amuweereza. Awo lwe mulidda ne mwawula omutuukirivu n'omubi, oyo aweereza Katonda n'oyo atamuweereza.”
Explore Malaki 3:17-18
4
Malaki 3:1
“Laba, ntuma omubaka wange, naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange, era Mukama gwe munoonya alijja mu Yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n'omubaka we gwe musanyukira, laba, ajja,” bw'ayogera Mukama w'eggye
Explore Malaki 3:1
Home
Bible
Plans
Videos