N'amutwala e Yerusaalemi, n'amuteeka ku kitikkiro kya Yeekaalu, n'amugamba nti, “ Oba oli Mwana wa Katonda, sinziira wano, weesuule wansi; kubanga kyawandiikibwa nti,
“Alikulagiririza bamalayika be bakukuumire ddala;
Era nti
Balikuwanirira mu mikono gyabwe,
Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.”
Yesu n'addamu n'amugamba nti, “ Kyawandiikibwa nti Tokemanga Mukama Katonda wo.”