N'agamba abaana ba Isiraeri nti, “Abaana bammwe bwe banaabuuzanga bakitaabwe mu biro ebigenda okujja, nti, ‘Amakulu g'amayinja gano ki?’ ne mulyoka mutegeezanga abaana bammwe, nga mwogera nti, ‘Abaisiraeri baasomoka omugga guno Yoludaani nga mukalu.’ Kubanga Mukama Katonda wammwe yakaliza amazzi ga Yoludaani mu maaso gammwe, okutuuka bwe mwamala okusomoka, nga Mukama Katonda wammwe bwe yakola Ennyanja Emmyufu, gye yakaliza mu maaso gaffe, okutuuka bwe twamala okusomoka