Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Yeremiya nnabbi, ekikwata ku Bafirisuuti, Falaawo nga tannakuba Gaza.
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “ Laba, amazzi gatumbiira agava obukiikakkono, era galifuuka mugga ogwanjaala, era galyanjaala ku nsi ne byonna ebigirimu, ekibuga n'abo abakituulamu; n'abantu balikaaba, n'abo bonna ababeera mu nsi balikungubaga.