1
Isaaya 66:2
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Kubanga bino byonna omukono gwange gwe gwabikola, era ebyo byonna ne bibaawo bwe bityo, bw'ayogera Mukama. Naye omuntu alina omwoyo oguboneredde era ow'eggonjebwa era omwetoowaze era akankanira ekigambo kyange ye wuuyo gwe nditunuulira.
Compare
Explore Isaaya 66:2
2
Isaaya 66:1
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “ Eggulu ye ntebe yange, n'ensi ye ntebe y'ebigere byange; nnyumba ki gye mulinzimbira? Era kifo ki ekiriba ekiwummulo kyange?
Explore Isaaya 66:1
3
Isaaya 66:13
Ng'omuntu nnyina gw'asanyusa, bwe ntyo bwe ndisanyusa mmwe; ne musanyusibwa mu Yerusaalemi.
Explore Isaaya 66:13
4
Isaaya 66:22
Kubanga eggulu eriggya n'ensi empya bye ndikola bwe birisigala mu maaso gange, bw'ayogera Mukama, bwe bityo bwe lirisigala ezzadde lyammwe n'erinnya lyammwe.
Explore Isaaya 66:22