Mulinnye ku lusozi, muleete emiti, muzimbe ennyumba; nange ndigisanyukira, era ndigulumizibwa,” bw'ayogera Mukama. “Mwasuubira bingi, kale laba ne biba bitono; era bwe mwabireeta eka, ne mbifuumuula. Lwaki?” Bw'ayogera Mukama w'eggye. “Ogw'ennyumba yange ebeererawo mu matongo, nammwe muddukira buli muntu mu nnyumba ye.