Kubanga omutiini newakubadde nga tegwanya,
So n'emizabbibu nga tegiriiko bibala;
Emizeyituuni ne bwe gifa, era nga bateganira bwereere,
Ennimiro ne bwezitaleeta mmere yonna;
Embuzi nga zimaliddwawo mu kisibo,
So nga tewali na nte mu biraalo,
Era naye ndisanyukira Mukama,
ndijaguliza Katonda ow'obulokozi bwange