N'asabira Yusufu omukisa n'ayogera nti,
“Katonda wa bajjajjange Ibulayimu ne Isaaka gwe baaweerezanga,
Katonda andabiridde ennaku zange zonna okutuusa leero;
malayika eyannunula mu bubi bwonna, awe abalenzi omukisa.
Erinnya lyange, n'erya jjajjange Ibulayimu ne kitange Isaaka gatuumibwenga mu bo,
era bafuuke ekibiina ekinene mu nsi.”