“Era oliragira abaana ba Isiraeri bakuleetere amafuta amalungi ag'omuzeyituuni agakubibwa ag'ettaala okwasa ettaala bulijjo. Mu weema ey'okusisinkanirangamu, ebweru w'eggigi eriri mu maaso g'obujulirwa, Alooni n'abaana be banaagirongoosanga okuva olweggulo okutuusa enkya mu maaso ga Mukama; linaabanga tteeka ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna mu baana ba Isiraeri.”