1
Abaefeso 6:12
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Kubanga tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula n'abaamasaza, n'ab'obuyinza, n'abafuga ensi ab'omu kizikiza kino, n'emyoyo egy'obubi mu bifo ebya waggulu.
Compare
Explore Abaefeso 6:12
2
Abaefeso 6:18
Musabenga buli kiseera mu Mwoyo n'okusaba n'okwegayiriranga kwonna. Mutunulenga n'okugumiikiriza nga musabiranga abatukuvu bonna.
Explore Abaefeso 6:18
3
Abaefeso 6:11
Mwambalenga eby'okulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani.
Explore Abaefeso 6:11
4
Abaefeso 6:13
Kale mutwalenga eby'okulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuguma ku lunaku olubi, era bwe mulimala okukola byonna, musobole okuyimirira.
Explore Abaefeso 6:13
5
Abaefeso 6:16-17
Era ku ebyo byonna nga mukwatiddeko engabo ey'okukkiriza, eneebayinzisanga okuzikiza obusaale bwonna obw'omuliro obw'omubi. Muweebwe ne sseppewo ey'obulokozi, n'ekitala eky'Omwoyo, kye kigambo kya Katonda.
Explore Abaefeso 6:16-17
6
Abaefeso 6:14-15
Kale muyimirirenga, nga mwesibye mu kiwato kyammwe amazima, era nga mwambadde eky'omu kifuba obutuukirivu, era nga munaanise mu bigere okweteekateeka okw'Enjiri ey'emirembe.
Explore Abaefeso 6:14-15
7
Abaefeso 6:10
Eky'enkomerero, mubenga n'amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw'amaanyi ge.
Explore Abaefeso 6:10
8
Abaefeso 6:2-3
“Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko” (lye tteeka ery'olubereberye eririmu okusuubiza), “olyoke obeerenga bulungi, era owangaalenga ennaku nnyingi ku nsi.”
Explore Abaefeso 6:2-3
9
Abaefeso 6:1
Abaana abato, muwulirenga abazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga kino kye kituufu.
Explore Abaefeso 6:1
Home
Bible
Plans
Videos