Ananiya n'agenda n'ayingira mu nnyumba, bwe yamussaako emikono n'ayogera nti, “ Ow'oluganda Sawulo, Mukama waffe antumye, Yesu eyakulabikira mu kkubo ng'ojja, ozibule ojjuzibwe Omwoyo Omutukuvu.” Amangwago ku maaso ge ne kuba ng'okuvuddeko amagamba, n'azibula, n'ayimirira n'abatizibwa.