Oluvannyuma lw'ennaku nga munaana oba kkumi, n'aserengeta e Kayisaliya; ku lunaku olwokubiri n'atuula ku ntebe esalirwako emisango, n'alagira okuleeta Pawulo. Bwe yatuuka Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne baleeta emisango mingi egy'amaanyi okumuvunaana, kyokka nga tebayinza kulaga bukakafu ku gyo.