1
ENTANDIKWA 50:20
Luganda Bible 2003
LB03
Mmwe mwayagala okunkola ekibi, naye Katonda n'ayagala kiveemu ekirungi okuwonya obulamu bw'abantu abangi, abakyali abalamu kati, olw'ekyo ekyabaawo.
Yenzanisa
Ongorora {{vhesi}}
2
ENTANDIKWA 50:19
Naye Yosefu n'abagamba nti: “Temutya. Siyinza kweteeka mu kifo kya Katonda.
3
ENTANDIKWA 50:21
Temubaako kye mutya. Nja kubalabiriranga mmwe, n'abaana bammwe abato.” Bw'atyo n'abagumya n'ebigambo eby'ekisa.
4
ENTANDIKWA 50:17
yatugamba tukusabe nti: ‘Sonyiwa omusango n'ekibi kya baganda bo, kubanga kye baakukola kibi nnyo.’ Era kaakano tukwegayiridde, tusonyiwe ekibi kye twakola, ffe abaweereza ba Katonda wa kitaawo.” Yosefu n'akaaba amaziga bwe baamugamba ebyo.
5
ENTANDIKWA 50:24
Yosefu n'agamba baganda be nti: “Ndi kumpi okufa, naye Katonda talirema kubalabirira mmwe n'okubaggya mu nsi eno, okubatwala mu nsi gye yalayirira Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo.”
6
ENTANDIKWA 50:25
Awo Yosefu n'alayiza abaana ba Yisirayeli ng'abagamba nti: “Katonda talirema kubalabirira, era mutwalanga amagumba gange okugaggya mu nsi eno.”
7
ENTANDIKWA 50:26
Bw'atyo Yosefu n'afa, ng'awezezza emyaka kikumi mu kkumi. Ne bamukaza, ne bamuteeka mu ssanduuko mu Misiri.