Makko 3
3
1 #
Mat 12:9-14, Luk 6:6-11 N'ayingira nate mu kkuŋŋaaniro; mwalimu omuntu eyalina omukono ogukaze. 2Ne bamulabirira oba anaamuwonyeza ku lunaku lwa ssabbiiti, era bamuloope. 3N'agamba omuntu eyalina omukono ogukaze nti Yimirira wakati awo. 4Awo n'abagamba nti Kye kirungi ku lunaku lwa ssabbiiti okukola obulungi nantiki okukola obubi? kuwonya bulamu nantiki kutta? Naye ne basirika busirisi. 5#Yok 11:33Bwe yabeetoolooza amaaso n'obusungu, ng'anakuwadde olw'okukakanyala kw'emitima gyabwe, n'agamba omuntu nti Golola omukono gwo. N'agugolola: omukono gwe ne guwona. 6#Mat 22:16Amangu ago Abafalisaayo ne bavaamu ne bateesa n'Abakerodiyaani ku ye, nga bwe banaamuzikiriza.
7 #
Mat 12:15,16, Luk 6:17-19 Awo Yesu n'abayigirizwa be ne bagenda ku nnyanja, ebibiina bingi ne bimugoberera ebyava e Ggaliraaya n'e Buyudaaya 8#Mat 4:25n'e Yerusaalemi ne Idumaya n'emitala wa Yoludaani, n'abaliraanye e Ttuulo n'e Sidoni, ekibiina kinene, bwe baawulira bye yakola, ne bajja gy'ali. 9N'agamba abayigirizwa be eryato ettono limubeerenga kumpi ebibiina bireme okumunyigiriza; 10kubanga yawonya bangi, n'okugwa abalwadde ne bamugwako bamukwateko, bonna abaali balina ebibonoobono. 11#Luk 4:41Dayimooni ababi nabo bwe baamulaba ne bagwa mu maaso ge ne bakaaba nga bagamba nti Ggwe Mwana wa Katonda. 12#Mak 1:34N'abakuutira nnyo baleme okumwatiikiriza.
13 #
Mat 10:1-4
Awo n'alinnya ku lusozi n'abayita gy'ali b'ayagala: ne bagenda gy'ali. 14N'ayawulamu ekkumi n'ababiri okubeeranga awamu naye, era abatumenga okubuulira, 15n'okuba n'obuyinza okugobanga emizimu: 16#Yok 1:42Simooni n'amutuuma erinnya Peetero; 17#Luk 9:54ne Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana, muganda wa Yakobo; nabo n'abatuuma amannya Bowanerege, amakulu gaalyo nti Baana ba kubwatuka: 18ne Andereya ne Firipo, ne Battolomaayo, ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Saddayo, ne Simooni Omukananaayo, 19ne Yuda Isukalyoti, ye yamulyamu olukwe.
N'ajja mu nnyumba, 20ekibiina ne kikuŋŋaana nate, n'okuyinza ne batayinza na kulya mmere. 21#Yok 7:20; 8:48,52; 10:20Awo ababe bwe baawulira ne bafuluma okumukwata, kubanga baagamba nti Alaluse. 22#Mat 12:24-32, Luk 11:15-22; 12:10Awo abawandiisi abaaserengeta okuva e Yerusaalemi ne bagamba nti Alina Beeruzebuli, era nti Agoba dayimooni ku bwa mukulu wa badayimooni. 23N'abayita gy'ali, n'abagambira mu ngero nti Setaani ayinza atya okugoba Setaani? 24Obwakabaka bwe bwawukanamu bwo bwokka, obwakabaka obwo tebuyinza kuyimirira. 25N'ennyumba bw'eyawukanamu yo yokka, ennyumba eyo teriyinza kuyimirira. 26Era oba Setaani yeegolokokeddeko ye yekka, n'ayawukanamu, tayinza kuyimirira, naye aggwaawo. 27Naye tewali muntu ayinza okuyingira mu nnyumba y'omuntu ow'amaanyi okunyaga ebintu bye, nga tasoose kusiba oyo ow'amaanyi, n'alyoka anyaga ennyumba ye. 28Mazima mbagamba nti Abaana b'abantu balisonyiyibwa ebibi byabwe byonna, n'obuvvoozi bwabwe bwe balivvoola bwonna; 29naye oyo yenna anavvoolanga Omwoyo Omutukuvu talina kusonyiyibwa emirembe n'emirembe, naye azzizza omusango ogw'ekibi eky'emirembe n'emirembe: 30#Mak 3:22kubanga baayogera nti Alina dayimooni.
31 #
Mat 12:46-50, Luk 8:19-21 Awo nnyina ne baganda be ne bajja, ne bamutumira ne bamuyita nga bayimiridde wabweru. 32N'ekibiina kyali kitudde nga bamwetoolodde; ne bamugamba nti Laba, nnyoko ne baganda bo bali wabweru bakunoonya. 33N'abaddamu ng'agamba nti Mmange ye ani ne baganda bange? 34n'abeetoolooza amaaso abaali batudde enjuyi zonna nga bamwetoolodde n'agamba nti laba, mmange ne baganda bange! 35Kubanga buli muntu yenna anaakolanga Katonda by'ayagala, oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange.
Obecnie wybrane:
Makko 3: LUG68
Podkreślenie
Kopiuj
Porównaj
Udostępnij
Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.