Makko 4
4
1 #
Mat 13:1-23, Luk 8:4-15 Ate n'atanula okuyigiriza ku lubalama lw'ennyanja. Ekibiina kinene nnyo ne kikuŋŋaanira w'ali, n'okusaabala n'asaabala mu lyato, n'atuula mu nnyanja; ekibiina kyonna ne kibeera ku nnyanja ku ttale. 2N'abayigiriza bingi mu ngero, n'abagamba mu kuyigiriza kwe nti 3Muwulire; laba, omusizi yafuluma okusiga: 4awo olwatuuka bwe yali ng'asiga, ezimu ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya. 5N'endala ne zigwa awali enjazi awatali ttaka lingi; amangu ago ne zimera, kubanga ettaka teryali ggwanvu: 6enjuba bwe yayaka, ne ziwotookerera; era kubanga tezaalina mmizi, ne zikala. 7Endala ne zigwa awali amaggwa, amaggwa ne galoka, ne gazizisa ne zitabala bibala. 8Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zibala ebibala ne bikula ne byeyongera; ne zizaala okutuusa amakumi asatu, era okutuusa enkaaga, era okutuusa ekikumi. 9N'agamba nti Alina amatu ag'okuwulira, awulire.
10Awo bwe yali yekka, abo abaali bamwetoolodde n'ekkumi n'ababiri ne bamubuuza ku ngero ezo. 11#1 Kol 5:12N'abagamba nti Mmwe mwaweebwa ekyama ky'obwakabaka bwa Katonda: naye bali ab'ebweru byonna bibabeerera mu ngero: 12#Is 6:9,10, Yok 12:40, Bik 28:26bwe balaba balabe, ne bateetegereza; era bwe bawulira bawulire, ne batategeera; mpozzi baleme okukyuka nate, okusonyiyibwa. 13N'abagamba nti Temumanyi lugero luno? kale mulitegeera mutya engero zonna? 14Omusizi asiga kigambo. 15Bano be b'oku mabbali g'ekkubo, ekigambo we kisigibwa; awo bwe bawulira, amangu ago Setaani n'ajja n'aggyamu ekigambo ekyasigibwa mu bo. 16Ne bano bwe batyo be bali abasigibwa awali enjazi, abo, bwe bawulira ekigambo, amangu ago bakikkiriza n'essanyu; 17ne bataba na mmizi mu bo, naye bamala ekiseera kitono; awo bwe wabaawo okulaba ennaku oba kuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangu ago beesittala. 18N'abalala be bali abasigibwa awali amaggwa; abo, bwe bawulira ekigambo, 19#Mak 10:23,24awo emitawaana gy'ensi n'obulimba bw'obugagga, n'okwegomba kw'ebirala byonna bwe biyingira bizisa ekigambo, ne kitabala: 20n'abo be bali abasigibwa awali ettaka eddungi; abawulira ekigambo, abakikkiriza, ababala ebibala amakumi asatu, n'enkaaga, n'ekikumi.
21 #
Mat 5:15
N'abagamba nti Ettabaaza ereetebwa okuteekebwa munda w'ekibbo, nantiki munda w'ekitanda, n'eteteekebwa waggulu ku kikondo? 22#Mat 10:26, Luk 12:2Kubanga tewali kikwekebwa, naye kirimanyibwa; newakubadde ekyakisibwa, naye kirirabika lwatu. 23Buli alina amatu ag'okuwulira, awulire. 24#Mat 7:2N'abagamba nti Mwekuume kye muwulira: mu kigera mwe mugera nammwe mwe muligererwa: era mulyongerwako. 25#Mat 13:12Kubanga alina aliweebwa: n'atalina aliggibwako n'ekyo ky'ali nakyo.
26N'agamba nti Obwakabaka bwa Katonda bwe buti, ng'omuntu bw'amansa ensigo ku ttaka; 27#Yak 5:7ne yeebaka n'agolokoka ekiro n'emisana, n'ensigo n'emeruka n'ekula, ye nga tamanyi bw'emeruse. 28Ensi ebala yokka, okusooka kalagala, ate kirimba, ate ŋŋaano enkulu mu kirimba. 29#Yo 3:13Naye emmere bw'eyengera, amangu ago assaako ekiwabyo, kubanga okukungula kutuuse.
30 #
Mat 13:31,32,34, Luk 13:18,19 N'agamba nti Tunaabufaananya tutya obwakabaka bwa Katonda? Nantiki tunaabunnyonnyolera ku kifaananyi ki? 31Bufaanana ng'akaweke aka kaladaali, ako, bwe kasigibwa mu ttaka, newakubadde nga ke katono okukira ensigo zonna eziri mu nsi, 32#Dan 4:12,21, Ez 17:23; 31:6naye bwe kasigibwa kakula, kaba kanene okukira enva zonna, kasuula amatabi amanene; kale era ennyonyi ez'omu bbanga ne ziyinza okutuula wansi w'ekisiikirize kyagwo.
33N'abagamba ekigambo mu ngeri nnyingi ng'ezo, nga bwe bayinza okukiwulira: 34teyayogera nabo awatali lugero: naye n'ategeezanga abayigirizwa be ye byonna mu kyama.
35 #
Mat 8:18,23-27, Luk 8:22-25 Awo ku lunaku olwo bwe bwali buwungedde, n'abagamba nti Tuwunguke tutuuke emitala w'eri. 36Bwe baaleka ekibiina, ne bamutwalira mu lyato, nga bwe yali. Era n'amaato amalala gaali naye. 37Awo omuyaga mungi ne gujja, amayengo ne gayiika mu lyato, n'eryato lyali nga ligenda okujjula. 38Ye yennyini yali yeebase mu kiwenda ku kigugu, ne bamuzuukusa, ne bamugamba nti Omuyigiriza, tofaayo nga tufa? 39N'azuukuka, n'aboggolera omuyaga, n'agamba ennyanja nti sirika, teeka. Omuyaga ne gukkakkana, n'eba nteefu nnyo. 40N'abagamba nti Kiki ekibatiisa? Temunnaba kuba na kukkiriza? 41Ne batya entiisa ennene, ne bagambagana nti Kale ono ye ani, kubanga omuyaga n'ennyanja bimuwulira?
Obecnie wybrane:
Makko 4: LUG68
Podkreślenie
Kopiuj
Porównaj
Udostępnij
Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.