Makko 2
2
1 #
Mat 9:1-8, Luk 5:17-26 Awo ennaku bwe zaayitawo n'ayingira nate mu Kaperunawumu, ne kiwulirwa ng'ali mu nju. 2Ne bakuŋŋaana bangi, n'okugyawo ne batagyawo nate newakubadde mu mulyango: n'ababuulira ekigambo. 3Ne bajja abaaleeta omulwadde akoozimbye nga bamwetisse bana. 4Naye bwe baalemwa okumusemberera olw'ekibiina, ne babikkula waggulu ku nnyumba we yali: ne bawummulawo ekituli ne bamussiza ku kitanda akoozimbye kwe yali agalamidde. 5Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe n'agamba akoozimbye nti Mwana wange, ebibi byo bikuggiddwako. 6Naye waaliwo abawandiisi abamu nga batudde nga balowooza mu mitima gyabwe 7#Is 43:25nti Ono kiki ekimwogeza bw'atyo? Avvoola: ani ayinza okuggyako ebibi wabula omu, ye Katonda? 8Amangu ago Yesu bwe yategeera mu mwoyo gwe nga balowooza bwe batyo munda yaabwe n'abagamba nti Kiki ekibalowoozesa ebyo mu mitima gyammwe? 9Ekyangu kiruwa, okugamba akoozimbye nti Ebibi byo bikuggiddwako; nantiki okugamba nti Golokoka, weetikke ekitanda kyo, ogende? 10Naye mumanye nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi (n'agamba akoozimbye nti) 11Nkugamba, Golokoka, weetikke ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo. 12N'agolokoka, ne yeetikka amangu ago ekitanda, n'afuluma mu maaso gaabwe bonna; awo ne beewuunya bonna ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti Tetulabangako bwe tuti.
13 #
Mat 9:9-13, Luk 5:27-32 N'avaawo nate n'agenda ku lubalama lw'ennyanja; ebibiina byonna ne bajja w'ali, n'abayigiriza. 14#Yok 1:43Awo bwe yali ng'ayita, n'alaba Leevi omwana wa Alufaayo ng'atudde mu ggwoolezo, n'amugamba nti Yita nange. N'agolokoka n'ayita naye. 15Awo bwe yali ng'atudde mu nnyumba y'oyo ng'alya, abawooza bangi n'abalina ebibi ne batuula wamu ne Yesu n'abayigirizwa be; kubanga baali bangi, abaagenda naye. 16Abawandiisi ab'omu Bafalisaayo bwe baamulaba ng'alya wamu n'abalina ebibi n'abawooza, ne bagamba abayigirizwa be nti Alya era anywera wamu n'abawooza n'abalina ebibi. 17Awo Yesu bwe yawulira n'abagamba nti Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde: sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi.
18 #
Mat 9:14-17, Luk 5:33-38 Awo abayigirizwa ba Yokaana n'ab'Abafalisaayo baali nga basiiba; ne bajja ne bamugamba nti Kiki abayigirizwa ba Yokaana n'abayigirizwa b'Abafalisaayo ekibasiibya, abayigirizwa bo nga tebasiiba? 19Yesu n'abagamba nti Abaana b'obugole bayinza batya akusiiba awasizza omugole ng'ali nabo? mu biro byonna nga bali naye awasizza omugole, tebayinza kusiiba. 20Naye ennaku zirituuka, awasizza omugole lw'alibaggibwako, ne balyoka basiiba ku lunaku olwo. 21Tewali muntu atunga ekiwero eky'olugoye oluggya ku kyambalo ekikadde; bwe kiba kityo kiri eky'oku kizibawo kikutula kiri, ekikadde ekiggya, ekituli ne kyeyongera. 22Era tewali muntu afuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba enkadde: bwe kiba kityo omwenge gwabya ensawo ez'amaliba, omwenge ne gufaafaagana n'ensawo ez'amaliba zoonoonekaz; naye omwenge omusu gufukibwa mu nsawo ez'amaliba empya.
23 #
Mat 12:1-8, Luk 6:1-5 Awo olwatuuka yali ng'atambula mu nnimiro ku lunaku lwa ssabbiiti; abayigirizwa be ne batanula okugenda nga banoga ebirimba. 24Abafalisaayo ne bamugamba nti Laba, kiki ekibakoza eky'omuzizo ku lunaku lwa ssabbiiti?
25N'abagamba nti Temusomangako Dawudi kye yakola, bwe yali nga yeetaaga, n'alumwa enjala ye n'abo be yali nabo? 26#1 Sam 21:1-6, Leev 24:5-9Bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, Abiyasaali bwe yali nga ye kabona asinga obukulu, n'alya emigaati egy'okulaga, egy'omuzizo okuliibwako wabula bakabona, n'agiwa ne be yali nabo? 27#Ma 5:14N'abagamba nti Ssabbiiti yabaawo ku lwa muntu, so omuntu si ku lwa ssabbiiti: 28bwe kityo Omwana w'omuntu ye mukama wa ssabbiiti nayo.
Obecnie wybrane:
Makko 2: LUG68
Podkreślenie
Kopiuj
Porównaj
Udostępnij
Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.