Makko 1
1
1Okusooka kw'enjiri ya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda. 2#Mat 3:1-12, Luk 3:1-12, Yok 1:19-30Nga bwe kyawandiikibwa mu nnabbi Isaaya nti
Laba, nze ntuma omubaka wange mu maaso go,
Alirongoosa oluguudo lwo;#Mal 3:1, Mat 11:10, Yok 3:28
3 #
Is 40:3
Eddoboozi lye ayogerera waggulu mu ddungu nti
Mulongoose oluguudo lwa Mukama,
Muluŋŋamye amakubo ge;
4Yokaana yajja eyabatiza mu ddungu n'abuulira okubatizibwa okw'okwenenya olw'okuggibwako ebibi. 5N'ensi yonna ey'e Buyudaaya n'ab'e Yerusaalemi bonna ne bavaayo ne bajja gy'ali ne babatizibwa ye mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe. 6#2 Bassek 1:8, Zek 13:4Ne Yokaana yayambalanga byoya bya ŋŋamira, n'olukoba lw'eddiba mu kiwato kye, ng'alya nzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu nsiko. 7#Bik 13:25N'abuulira ng'agamba nti Ajja ennyuma wange ye ansinga amaanyi, so sisaanira kukutama kutuggulula lukoba lwa ngatto ze. 8Nze nabatiza n'amazzi, naye oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu.
9 #
Luk 2:51
#
Mat 3:13-17, Luk 3:21-22, Yok 1:31-34 Awo olwatuuka mu nnaku ezo Yesu n'ava e Nazaaleesi eky'e Ggaliraaya n'ajja okubatizibwa Yokaana mu Yoludaani. 10Amangu ago bwe yava mu mazzi, n'alaba eggulu nga liyulise, n'Omwoyo ng'ali ng'ejjiba ng'akka ku ye: 11#Mak 9:7, Zab 2:7, Is 42:21n'eddoboozi ne lifuluma mu ggulu erigamba nti Ggwe Mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.
12 #
Zab 91:13, Yok 1:51 Amangu ago Omwoyo n'amugobera mu ddungu. 13#Zab 91:13, Yok 1:51N'amalayo mu ddungu ennaku amakumi ana ng'akemebwa Setaani; n'aba wamu n'ensolo; bamalayika ne bamuweereza.
14 #
Mat 4:14,15 Awo oluvannyuma Yokaana ng'amaze okuweebwayo, Yesu n'ajja e Ggaliraaya, ng'abuulira enjiri ya Katonda, 15#Bag 4:4ng'agamba nti ekiseera kituuse, obwakabaka bwa Katonda busembedde, mwenenye, mukkirize enjiri.
16 #
Mat 4:18-22, Luk 5:1-11 Bwe yali ng'ayita ku lubalama lw'ennyanja ey'e Ggaliraaya n'alaba Simooni ne Andereya muganda wa Simooni nga basuula omugonjo mu nnyanja, kubanga baali bavubi. 17#Mat 13:47Yesu n'abagamba nti Mujje muyite nange, ndibafuula abavubi b'abantu. 18Amangu ago ne baleka awo emigonjo ne bagenda naye. 19Bwe yasemberayo mu maaso katono, n'alaba Yakobo omwana wa Zebbeddaayo ne Yokaana muganda we, abo bombi baali mu lyato nga bayunga emigonjo. 20Amangu ago n'abayita: ne baleka awo kitaabwe Zebbedaayo mu lyato ng'ali n'abo abakolera empeera, ne bamugoberera.
21 #
Mat 4:13
Ne bayingira e Kaperunawumu; amangu ago ku lunaku lwa ssabbiiti n'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'ayigiriza. 22#Mat 7:28,29Ne bawuniikirira olw'okuyigiriza kwe: kubanga yabayigiriza nga ye nnyini buyinza, so si ng'abawandiisi. 23Amangu ago mu kkuŋŋaaniro lyabwe mwalimu omuntu aliko dayimooni omubi; n'akaaba 24#Mak 5:7, Zab 16:10nga agamba nti Otuvunaana ki, Yesu ow'e Nazaaleesi? ozze kutuzikiriza? nkumanyi ggwe, ggwe oli Mutukuvu wa Katonda. 25Yesu n'amuboggolera ng'agamba nti Bunira, muveeko. 26#Mak 9:26Dayimooni n'amutaagula n'akaaba eddoboozi ddene n'amuvaako. 27Ne beewuunya bonna, ne beebuuzaganya nga bagamba nti Kiki kino? okuyigiriza kuggya! alagira n'obuyinza dayimooni ne bamuwulira. 28Amangu ago ettutumu lye ne libuna ensi yonna eriraanye Ggaliraaya.
29 #
Mat 8:14-16, Luk 4:38-41 Amangu ago bwe baafuluma mu kkuŋŋaaniro ne bagenda wamu ne Yakobo ne Yokaana mu nnyumba ya Simooni ne Andereya. 30Awo nnyina mukazi wa Simooni yali ng'agalamidde ng'alwadde omusujja; amangu ago ne bamubuulira bw'ali: 31n'ajja n'amukwata ku mukono n'amugolokosa, omusujja ne gumuwonako, n'abaweereza.
32Awo olweggulo, enjuba ng'egudde, ne bamuleetera abalwadde bonna, n'abo abaliko dayimooni. 33N'ekibuga kyonna ne kikuŋŋaanira ku wankaaki. 34#Bik 16:17,18N'awonya bangi abaali balwadde endwadde nnyingi, n'agoba dayimooni bangi, n'atabaganya kwogera kubanga baamumanya.
35 #
Luk 4:42-44
Awo mu makya ennyo, nga bukyali kiro, n'agolokoka n'afuluma, n'agenda mu ddungu, n'asabira eyo. 36Simooni n'abo abaali naye ne bamugoberera; 37ne bamulaba ne bamugamba nti Bonna bakunoonya. 38N'abagamba nti Tugende awalala mu bibuga ebiri okumpi mbuulire n'eyo; kubanga ekyo kye nnajjirira. 39N'ayingira mu makuŋŋaaniro gaabwe mu Ggaliraaya yonna, ng'abuulira ng'agoba dayimooni.
40 #
Mat 8:2-4, Luk 5:12-16 Omugenge n'ajja gy'ali, ng'amwegayirira ng'amufukaamirira, ng'amugamba nti Bw'oyagala, oyinza okunnongoosa. 41N'amusaasira n'agolola omukono gwe n'amukwatako n'amugamba nti Njagala; longooka. 42Amangu ago ebigenge bye ne bimuwonako n'alongooka. 43#Mak 3:12; 7:36N'amukuutira nnyo, amangu ago n'amusindika 44#Leev 13:49; 14:2-32n'amugamba nti Laba tobuulirako muntu; naye genda weeyoleke eri kabona, oweeyo olw'okulongooka kwo Musa bye yalagira okuba omujulirwa gye bali. 45Naye n'afuluma, n'asooka okukibuulira ennyo n'okubunya ekigambo, n'okuyinza n'atayinza Yesu okuyingira nate mu kibuga mu lwatu, naye yali bweru mu malungu; ne bajja gy'ali nga bava wonna wonna.
Obecnie wybrane:
Makko 1: LUG68
Podkreślenie
Kopiuj
Porównaj
Udostępnij
Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.