Matayo 28
28
1 #
Mak 16:1-10, Luk 24:1-10, Yok 20:1-18 Naye olunaku olwa ssabbiiti bwe lwali lugenda okuggwaako, ng'olunaku olw'olubereberye mu nnaku omusanvu lunaatera okukya, Malyamu Magudaleene ne Malyamu ow'okubiri ne bajja okulaba amalaalo. 2Laba, ne wabaawo ekikankano ekinene ku nsi; kubanga malayika wa Mukama yava mu ggulu, n'ajja n'ayiringisa ejjinja okuliggyawo, n'alituulako. 3#Mat 17:2, Bik 1:10Naye ekifaananyi kye kyali nga kumyansa, n'engoye ze zaali zitukula ng'omuzira: 4era entiisa ye n'ekankanya abakuumi, ne baba ng'abafudde. 5Naye malayika n'addamu n'agamba abakazi nti Mmwe temutya: kubanga mmanyi nga munoonya Yesu eyakomererwa. 6#Mat 12:40; 16:21; 17:23; 20:19, Bik 2:36Tali wano; kubanga azuukidde, nga bwe yagamba. Mujje, mulabe ekifo Mukama we yagalamira. 7#Mat 26:32Mugende mangu, mubuulire abayigirizwa be nti Azuukidde mu bafu; laba, abakulembera okugenda e Ggaliraaya; gye mulimulabira: laba, mbabuulidde. 8Ne bava mangu ku ntaana, n'entiisa n'essanyu lingi, ne badduka okubuulira abayigirizwa be. 9Laba, Yesu n'abasisinkana, n'agamba nti Mirembe. Ne bajja ne bamukwata ebigere, ne bamusinza. 10#Beb 2:11, Lub 45:4; 50:19Awo Yesu n'abagamba nti Temutya: mugende mubuulire baganda bange bagende e Ggaliraaya, gye balindabira.
11Naye bwe baali bagenda, laba abakuumi abamu ne bajja mu kibuga, ne babuulira bakabona abakulu byonna ebibaddeyo. 12Ne bakuŋŋaana wamu n'abakadde, ne bateesa wamu, ne babaweera basserikale effeeza nnyingi, 13#Mat 27:64ne bagamba nti Mugambanga nti Abayigirizwa be bajja ekiro, ne bamubba ffe nga twebase. 14Naye ekigambo kino bwe kiribuulirwa owessaza, ffe tulimuwooyawooya, nammwe tulibaggyako omusango. 15Nabo ne batwala effeeza, ne bakola nga bwe baaweererwa: ekigambo kino ne kibuna mu Bayudaaya, okutuusa leero.
16 #
Mat 28:7
Naye abayigirizwa ekkumi n'omu ne bagenda e Ggaliraaya ku lusozi Yesu gye yabalagira. 17Bwe baamulaba ne bamusinza: naye abalala ne babuusabuusa. 18#Mat 11:27, Bef 1:20-22, Dan 7:14Yesu n'ajja n'ayogera nabo, n'agamba nti Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. 19#Mak 16:15,16Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n'Omwana n'Omwoyo Omutukuvu; 20#Mat 18:20, Yok 14:23nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe: era, laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.
Obecnie wybrane:
Matayo 28: LUG68
Podkreślenie
Kopiuj
Porównaj
Udostępnij
Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.