Yoweeri 3
3
1 #
Yer 30:3
Kubanga, laba, mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bwe ndikomyawo obusibe bwa Yuda ne Yerusaalemi, i, 2#Yer 25:31, Zef 3:8ndikuŋŋaanya amawanga gonna ne mbaserengesa mu kiwonvu kya Yekosaffaati; kale ndiyima eyo ne mpolereza abantu bange n'obusika bwange Isiraeri be basaasaanyirizza mu mawanga ne bagabana ensi yange. 3#Nak 3:10Era bakubidde abantu bange obululu: era bawaddeyo omulenzi olw'omukazi omwenzi, ne batunda omuwala olw'omwenge, balyoke banywe. 4#Is 23:1,2, Ez 25:15,16Weewaawo, nammwe nfaayo ki eri mmwe, mmwe Ttuulo ne Sidoni n'enjuyi zonna ez'Obufirisuuti? Mulinsasula? n'okusasula bwe muliba nga munsasudde, ndyanguya mangu ndisambyako okuzza okusasula kwammwe ku mutwe gwammwe mmwe. 5#2 Byom 21:16,17Kubanga mututte effeeza yange ne zaabu yange, ne mutwala mu biggwa byammwe ebintu byange ebirungi ebisanyusa; 6era abaana ba Yuda n'abaana ba Yerusaalemi mwabaguza abaana b'Abayonaani, mubajjulule okubatwala ewala n'ensalo yaabwe: 7Laba, ndibagolokosa mu kifo gye mwabatunda, era ndizza okusasula kwammwe ku mutwe gwammwe mmwe: 8era nditunda batabani bammwe ne bawala bammwe mu mukono gw'abaana ba Yuda, n'abo balibaguza abasajja ab'e Seba, eggwanga eriri ewala: kubanga Mukama ye akyogedde.
9 #
Yer 6:4
Mulangirire kino mu mawanga; mutegeke obulwa: mugolokose abasajja ab'amaanyi: abasajja bonna abalwanyi basembere, bambuke. 10#Is 2:4Muweese enkumbi zammwe okuba ebitala, n'ebiwabyo byammwe okuba amafumu: omunafu ayogere nti Ndi wa maanyi. 11Mwanguwe mujje, mmwe mwenna amawanga ageetoolodde mukuŋŋaane: serengesa eyo ababo ab'amaanyi, ai Mukama. 12#Zab 98:9; 110:6, Is 3:13Amawanga gayimuke gambuke mu kiwonvu kya Yekosaffaati: kubanga eyo gye ndituula okusala omusango gw'amawanga gonna ageetoolodde. 13#Is 63:2,3, Yer 51:33, Kos 6:11, Yok 4:35, Kub 14:15-20Muteekeewo ekiwabyo, kubanga ebikungulwa byengedde: mujje musambe; kubanga essogolero lijjudde, amabanvu gayiika; kubanga obubi bwabwe bungi. 14#Yo 1:15; 2:10Oluggube, oluggube, oluggube lw'abantu bali mu kiwonvu eky'okumaliririramu! kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi mu kiwonvu eky'okumaliririramu. 15Enjuba n'omwezi biriko ekizikiza, n'emmunyeenye zirekayo okwaka kwazo. 16#Is 25:4, Yer 25:30, Yo 2:11Awo Mukama aliwuluguma ng'ayima e Sayuuni, alireeta eddoboozi lye ng'ayima e Yerusaalemi; n'eggulu n'ensi birikankana: naye Mukama aliba buddukiro eri abantu be era ekigo eri abaana ba Isiraeri. 17#Zab 48:1, Is 52:1, Yer 31:23, Ez 6:7, Nak 1:15, Zek 14:21, Kub 21:27; 22:15Bwe mutyo mulimanya nga nze ndi Mukama Katonda wammwe, abeera ku Sayuuni olusozi lwange olutukuvu: kale Yerusaalemi kiriba kitukuvu, so tewaliba bannaggwanga abalikiyitamu nate. 18#Is 30:25, Ez 47:1, Am 9:13Awo olulituuka ku lunaku luli ensozi ziritonnya omwenge omuwoomerevu, n'obusozi bulikulukuta amata, n'obugga bwonna obwa Yuda bulikulukuta amazzi; era oluzzi luliva mu nnyumba ya Mukama, lulifukirira ekiwonvu Sittimu. 19#Is 19:1-17; 34:5Misiri eriba matongo, ne Edomu eriba ddungu eryalekebwawo, olw'ekyejo ekyagirirwa abaana ba Yuda, kubanga bayiye omusaayi ogutaliiko musango mu nsi yaabwe. 20#Zab 125:1,2, Ez 37:25Naye Yuda alibeerera ennaku zonna, ne Yerusaalemi okura ku mirembe okutuuka ku mirembe gyonna. 21#Is 4:4Era ndirongoosa omusaayi gwabwe gwe ssaalongoosa: kubanga Mukama abeera ku Sayuuni.
Obecnie wybrane:
Yoweeri 3: LUG68
Podkreślenie
Kopiuj
Porównaj
Udostępnij
Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.