Amosi 1
1
1 #
2 Bassek 14:23, 2 Byom 26:1,3, Kos 1:1, Am 7:10,14,15, Zek 14:5 Ebigambo bya Amosi eyali ow'oku basumba b'e Tekowa, bye yalaba ebya Isiraeri mu mirembe gya Uzziya kabaka wa Yuda, ne mu mirembe gya Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi kabaka wa Isiraeri ng'ekyasigaddeyo emyaka ebiri okutuuka ku kikankano ky'ensi.
2 #
Yo 3:16
N'ayogera nti Mukama aliwuluguma ng'ayima e Sayuuni, era alireeta eddoboozi lye ng'ayima e Yerusaalemi; kale amalundiro ag'abasumba galiwuubaala, n'entikko ya Kalumeeri eriwotoka.
3 #
2 Bassek 10:33, Nge 30:18, Is 8:4 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bisatu ebya Ddamasiko, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga bawudde Gireyaadi n'ebintu ebiwuula eby'ebyuma: 4#2 Bassek 13:24,25, Yer 49:27naye ndiweereza omuliro mu nnyumba ya Kazayeeri, kale gulyokya amayumba ga Benukadadi. 5Era ndimenya ekisiba kya Ddamasiko, ne mmalawo oyo abeera mu kiwonvu kya Aveni, n'oyo akwata omuggo ogw'obwakabaka ndimumalawo okuva ku nnyumba ya Adeni: n'abantu ab'e Busuuli baligenda mu busibe e Kiri, bw'ayogera Mukama.
6 #
2 Byom 28:17,18, Yer 47:1,5, Yo 3:4-6, Zef 2:4 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Gaza bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga batwala nga basibe eggwanga lyonna okubawaayo eri Edomu: 7naye ndiweereza omuliro ku bbugwe w'e Gaza, era gulyokya amayumba gaakyo: 8era ndimalawo abali mu Asudodi, n'oyo akwata omuggo ogw'obwakabaka ndimumalawo okuva ku Asukulooni: era ndikyusa omukono gwange okulwana ne Ekuloni, n'ekitundu ekifisseewo eky'Abafirisuuti balizikirira, bw'ayogera Mukama Katonda.
9Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Ttuulo bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga bagabula eggwanga lyonna eri Edomu ne batajjukira ndagaano ey'oluganda: 10naye ndiweereza omuliro ku bbugwe w'e Ttuulo, era gulyokya amayumba gaakyo.
11 #
Zab 137:7, Ez 35:5, Yo 3:19 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Edomu bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaako; kubanga yayigganyanga muganda we n'ekitala, n'asuula okusaasira kwonna, obusungu bwe ne butaagulataagula ennaku zonna n'aguguba n'ekiruyi kye emirembe gyonna: 12naye ndiweereza omuliro ku Temani, era gulyokya amayumba ag'e Bozula.
13 #
Yer 49:1-3, Kos 13:16, Zef 2:8,9 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono eby'abaana ba Amoni bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwabwe okubavaako; kubanga babaaze abakazi abali embuuto ab'e Giriyaadi, balyoke bagaziye ensalo yaabwe: 14#Ez 21:20,28naye ndikuma omuliro mu bbugwe w'e Labba, era gulyokya amayumba gaakyo, nga baleekaana ku lunaku olw'olutalo, kibuyaga ng'akunta ku lunaku olw'embuyaga ez'akazimu: 15era kabaka waabwe aligenda mu busibe, ye n'abakungu be wamu, bw'ayogera Mukama.
Obecnie wybrane:
Amosi 1: LUG68
Podkreślenie
Kopiuj
Porównaj
Udostępnij
Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.