Yoweeri 2
2
1 #
Yo 1:15; 2:15 Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, era mulayize ku lusozi lwange olutukuvu; bonna abali mu nsi bakankane: kubanga olunaku lwa Mukama lujja, kubanga luli kumpi; 2#Ez 30:3, Am 5:18,20, Zef 1:15olunaku olw'ekizikiza n'ekikome, olunaku olw'ebire n'ekizikiza ekikutte, ng'emmambya bw'esalira ku nsozi; eggwanga eddene era ery'amaanyi, tewabangawo eribenkana, so tewalibaawo nate oluvannyuma lwabwe, okutuusa ku myaka egy'emirembe emingi. 3#Lub 2:8,9, Is 51:3, Yo 1:19,20, Zek 7:14Omuliro gwokya mu maaso gaabwe; era ennyuma waabwe ennimi z'omuliro zaaka: ensi eri ng'olusuku lwa Adeni mu mberi yaabwe, n'ennyuma yaabwe ddungu eryazika; so naye tewali eyali abawonye. 4#Kub 9:7,9Enfaanana yaabwe eri ng'enfaanana y'embalaasi; era ng'abeebagadde embalaasi bwe badduka bwe batyo embiro. 5#Is 5:24, Ob 18Babuuka nga bawuuma ng'amagaali bwe gawuumira ku ntikko z'ensozi, ng'omuliro bwe guwuuma ogwokya ensambu, ng'eggwanga ery'amaanyi erisimbye ennyiriri olw'olutalo. 6#Nak 2:10Olw'okujja kwabwe abantu babalagalwa, amaaso gonna gafuuse ebbala. 7Badduka mbiro ng'abasajja ab'amaanyi; balinnya bbugwe ng'abasajja abalwanyi; era basimba buli muntu mu kkubo lye, so tebasobya nnyiriri. 8#Nge 30:27So tewali eyeesiga munne; basimba buli muntu mu mpitiro ye: era bawagulira awali ebyokulwanyisa, so tebakoma mu lugendo lwabwe. 9#Is 33:4, Yok 10:1Babuuka bagwa ku kibuga; bafubutukira ku bbugwe; bawalampa ne batuuka mu nnyumba; bayingirira mu madirisa ng'omubbi. 10#Zab 18:7, Is 13:10, Yo 3:15,16Ettaka likankana mu maaso gaabwe; eggulu lijugumira: enjuba n'omwezi bibaako ekizikiza, n'emmunyeeye zirekayo okwaka kwazo: 11#Yo 2:25, Mal 3:2, 1 Bas 4:16, Kub 18:8era Mukama aleeta eddoboozi lye mu maaso g'eggye lye; kubanga olusiisira lwe lunene nnyo; kubanga oyo atuukiriza ekigambo kye wa maanyi: kubanga olunaku lwa Mukama lukulu, lwa ntiisa nnyo nnyini; era ani ayinza okulusobola? 12#Ma 4:30, 1 Sam 7:3,6, Yer 4:1Era naye ne kaakano munkyukire n'omutima gwammwe gwonna, n'okusiiba n'okukaaba amaziga n'okuwuubaala: 13#Kuv 34:6, Zab 34:18; 86:5,15, Yon 4:2era muyuze omutima gwammwe so si byambalo byammwe, mukyukire Mukama Katonda wammwe: kubanga wa kisa, era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa nnyo ekisa, era yejjusa obutaleeta bubi. 14#Yo 1:9,13, Yon 3:9, Kag 2:19, Mal 3:10Ani amanyi oba nga taakyuke ne yejjusa n'aleka omukisa ennyuma we, kye kiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa eri Mukama Katonda wammwe?
15Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, mutukuze okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu: 16#Kuv 19:10,14,15, Ma 24:5, 2 Byom 20:13, Mub 3:5, 1 Kol 7:5mukuŋŋaanye abantu, mutukuze ekibiina, mukuŋŋaanye abakadde, muleete abaana abato n'abo abayonka amabeere: awasa omugole ave mu kisenge kye, n'omugole mu nju ye. 17#Zab 42:3, Ez 8:16Bakabona, abaweereza ba Mukama, bakaabire amaziga wakati w'ekisasi n'ekyoto, era boogere nti Saasira abantu bo, ai Mukama, so towaayo busika bwo okuvumibwa, amawanga okubafuga: kiki ekinaaba kiboogezza mu mawanga nti Katonda waabwe ali ludda wa?
18 #
Zab 103:13, Zek 1:14 Awo Mukama n'akwatirwa obuggya ensi ye, n'asaasira abantu be. 19#Zab 4:7, Yo 1:10, Mal 3:10-12Awo Mukama n'addamu n'agamba abantu be nti Laba, ndibaweereza eŋŋaano n'omwenge n'amafuta, era biribakkusa: 20#Is 34:3so siribafuula nate ekivume mu mawanga: naye ndibaggyako eggye ery'obukiika obwa kkono ne nditwala wala, ne mbagobera mu nsi enkalu eyalekebwawo, abakulembeze be mu nnyanja ey'ebuvanjuba, n'abasembi be mu nnyanja ey'ebugwanjuba; n'ekivundu kye kiririnnya, n'okuwunya kwe kulirinnya, kubanga akoze ebikulu. 21#Zab 126:2,3Totya, ggwe ensi, sanyuka ojaguze; kubanga Mukama akoze ebikulu. 22Temutya mmwe ensolo ez'omu nsiko; kubanga amalundiro ag'omu ddungu galoka, kubanga omuti gubala ebibala byagwo, omutiini n'omuzeyituuni gireeta amaanyi gaagyo. 23#Ma 11:14, Kos 6:3, 1 Bas 4:16, Kub 18:8Kale musanyuke, mmwe abaana ba Sayuuni, era mujagulize Mukama Katonda wammwe: kubanga abawa enkuba eya ttoggo mu kigera kyayo ekisaana, era abatonnyeseza enkuba, enkubaeya ttoggo n'enkuba eya ddumbi, mu mwezi ogw'olubereberye. 24N'amawuuliro galijjula eŋŋaano, n'amasogolero galiyiika omwenge n'amafuta. 25Era ndibaddiza emyaka enzige gye yalya, kalusejjera n'akaacaaka n'akawuka, eggye lyange eringi lye nnagaba okubatabaala. 26#Leev 25:19, Is 49:23Kale munaalyanga bingi nnyo, ne mu kkuta, ne mutendereza erinnya lya Mukama Katonda wammwe eyabakola eby'ekitalo: n'abantu bange tebalikwatibwa nsonyi ennaku zonna. 27#Is 44:8, Ez 37:26, Kos 11:9, Yo 3:17Era mulimanya nga ndi wakati mu Isiraeri, era nga ndi Mukama Katonda wammwe, so tewali mulala: n'abantu bange tebalikwatibwa nsonyi.
28 #
Bik 2:17-21, Is 32:15, Ez 39:29, Yok 7:39, Bik 10:45 Awo olulituuka oluvannyuma ndifuka omwoyo gwange ku bonna abalina omubiri; kale batabani bammwe ne bawala bammwe baliragula, abakadde bammwe baliroota ebirooto, abalenzi bammwe baliraba okwolesebwa: 29#1 Kol 12:13era ne ku baddu ne ku bazaana mu nnaku ezo kwe ndifuka omwoyo gwange. 30#Mal 4:5, Mat 24:29, Kub 6:12Era ndyolesa eby'ekitalo mu ggulu ne mu nsi, omusaayi n'omuliro n'empagi ez'omukka. 31Enjuba erifuuka kizikiza, n'omwezi okuba omusaayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olw'entiisa nga terunnaba kujja. 32#Is 59:20, Ob 17, Mi 4:7, Zek 8:12, Bar 9:27; 10:13Awo olulituuka buli alisaba erinnya lya Mukama alirokoka: kubanga ku lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi walibaawo abo abaliwona, nga Mukama bwe yayogera, ne mu kitundu ekirifikkawo mulibaamu abo Mukama b'aliyita.
Obecnie wybrane:
Yoweeri 2: LUG68
Podkreślenie
Kopiuj
Porównaj
Udostępnij
Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.