Yoweeri 1
1
1Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yoweeri mutabani wa Pesweri.
2 #
Yo 2:2
Muwulire kino, mmwe abakadde, era mutege okutu, mmwe mwenna abali mu nsi. Kino kyali kibaddewo mu biro byammwe oba mu biro bya bajjajjammwe? 3#Zab 78:4Mukibuulire abaana bammwe, n'abaana bammwe babuulire abaana baabwe, n'abaana baabwe ab'emirembe emirala. 4#Zab 78:46; 105:34, Yo 2:25, Am 4:9; 7:1Ebyo akawuka bye kafissizzaawo enzige ebiridde; n'ebyo enzige bye yafissizzawo kalusejjera kabiridde; n'ebyo kalusejjera bye kafissizzaawo akaacaaka kabiridde. 5#Is 24:11Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mukaabe amaziga; muwowoggane, mmwe mwenna abanywa omwenge, olw'omwenge omuwoomerevu; kubanga gumaliddwawo okuva ku kamwa kammwe. 6#Kub 9:8Kubanga eggwanga litabadde ensi yange, ery'amaanyi eritabalika: amannyo ge mannyo ga mpologoma, era alina amasongezo ag'empologoma enkulu. 7Azisizza omuzabbibu gwange, era asasambudde omutiini gwange: agusasambulidde ddala, era agusudde wala; amatabi gaagwo gafuuse meeru. 8Kungubaga ng'omuwala ey'esibye ebibukutu bw'akungubagira bba ow'omu buwala bwe. 9#Kuv 29:41, Ez 45:4Ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa bimaliddwawo okuva mu nnyumba ya Mukama; bakabona, abaweereza ba Mukama, bawuubaala. 10#Kos 2:9; 4:3Ennimiro ezise, ensi ewuubaala; kubanga eŋŋaano ezise, omwenge omusu gukaze, amafuta gaggweerera. 11#Yer 14:4Mukwatibwe ensonyi, mmwe abalimi, muwowoggane, mmwe abawawaagula emizabbibu, olw'eŋŋaano ne sayiri; kubanga ebikungulwa eby'omu nnimiro bifudde. 12#Is 16:10Omuzabbibu guwotose, n'omutiini guyongobera; omukomamawanga n'olukindu n'omucungwa, emiti gyonna egy'omu nnimiro, giwotose: kubanga essanyu liwotose okuva ku baana b'abantu. 13#Mi 1:8, Lub 2:8,9Mwesibe ebibukutu mukungubage, mmwe bakabona; muwowoggane, mmwe abaweereza ab'ekyoto; mujje mugalamire nga mwambadde ebibukutu mukeese obudde, mmwe abaweereza ba Katonda wange: kubanga ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa baguguba nabyo eri ennyumba ya Katonda wammwe. 14#2 Byom 20:3Mutukuze okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu, mukuŋŋaanyize abakadde ne bonna abali mu nsi eri ennyumba ya Mukama Katonda wammwe, mumukaabire Mukama. 15#Is 13:6, Yer 46:10, Yo 2:1,11,31; 3:14, Ob 15, Zek 14, 2 Peet 3:10Zitusanze olw'olunaku! kubanga olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka, era lulijja ng'okuzikiriza okuva eri Omuyinza w'ebintu byonna. 16#Ma 12:6,7Emmere temaliddwawo ffe nga tulaba, weewaawo, essanyu n'okujaguza okuva mu nnyumba ya Katonda waffe? 17Ensigo zivunda wansi w'amafunfugu gaazo; amawanika galekeddwawo, amaterekero gasuuliddwa; kubanga eŋŋaano ewotose. 18#Yer 12:4, Kos 4:3Ensolo nga zisinda! amagana g'ente gabuliddwa amagezi, kubanga tezirina muddo; weewaawo, ebisibo by'endiga birekeddwawo. 19#Zab 50:15, Yer 9:10Ai Mukama, ggwe nkaabira: kubanga omuliro gwokezza amalundiro ag'omu ddungu, n'ennimi zaagwo zookezza emiti gyonna egy'omu nnimiro. 20#Zab 104:21Weewaawo, ensolo ez'omu nsiko zikuwankirawankira: kubanga emigga egy'amazzi gikalidde, n'omuliro gwokezza amalundiro ag'omu ddungu.
Obecnie wybrane:
Yoweeri 1: LUG68
Podkreślenie
Kopiuj
Porównaj
Udostępnij
Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.