Amosi 2
2
1Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Mowaabu bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo; kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu n'agafuula evvu: naye ndiweereza omuliro ku Mowaabu, era gulyokya amayumba ag'e Keriyoosi; era Mowaabu alifa, nga basasamala nga baleekaana nga bafuuwa ekkondeere: 2#Yer 48:24 3#Yer 48:7era ndimalawo omulamuzi okuva wakati mu kyo, era ndittira abakungu baamu bonna wamu naye, bw'ayogera Mukama.
4 #
Leev 26:14,15, Ez 20:13, Dan 9:11, Bar 1:25 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Yuda bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaako; kubanga bagaanyi amateeka ga Mukama, so tebakutte biragiro bye, n'eby'obulimba byabwe bibawabizza, bajjajjaabwe bye baagobereranga mu kutambula kwabwe: 5#Yer 17:27, Kos 8:14naye ndiweereza omuliro ku Yuda, era gulyokya amayumba ag'e Yerusaalemi.
6 #
Leev 25:39, Am 8:6 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Isiraeri bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaako; kubanga batunze omutuukirivu olw'effeeza ne yeetaaga olw'omugogo gw'engatto: 7#Yob 24:4, Is 10:2, Ez 22:11, Am 5:12, 1 Kol 5:1abawankirawankira enfuufu ey'oku nsi ey'oku mutwe gw'abaavu, ne bakyamya olugendo olw'abawombeefu: n'omusajja ne kitaawe baliyingira eri omuwala omu, okwonoona erinnya lyange ettukuvu: 8#Kuv 22:26era bagalamira ku mabbali ga buli kyoto ku ngoye ze basingirwa, ne mu nnyumba ya Katonda waabwe mwe banywera omwenge gw'abo be batanze. 9Era naye nazikiriza Omwamoli mu mberi yaabwe, obuwanvu bwe bwali ng'obuwanvu obw'emivule, era yali wa maanyi ng'emyera; era naye nazikiriza ebibala bye engulu n'emmizi gye wansi. 10#Kuv 12:17,51Era nabalinnyisa nga mbaggya mu nsi y'e Misiri ne mbaluŋŋamiza emyaka amakumi ana mu ddungu, okulya ensi ey'Omwamoli. 11#Kubal 6:2,3Ne ngolokosa ku batabani bammwe okuba bannabbi, ne ku balenzi bammwe okuba Abawonge. Si bwe kiri bwe kityo, ai mmwe abaana ba Isiraeri? bw'ayogera Mukama. 12#Is 30:10, Am 7:13,16Naye ne muwa Abawonge omwenge okunywa; ne mulagira bannabbi nga mwogera nti Temulagula. 13Laba, ndibanyigiriza mu kifo kyammwe, ng'eggaali erijjudde ebinywa bwe linyigiriza. 14#Zab 33:16,17, Am 9:1Awo okudduka kulibula ow'embiro, so n'ow'amaanyi talyongera maanyi ge, so n'omuzira talyewonya: 15So n'oyo akwata omutego taliyimirira; era n'omuddusi w'embiro talyewonya wadde n'oyo eyeebagala embalaasi talyewonya: 16n'oyo alina obugumu mu b'amaanyi alidduka ng'ali bwereere ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama.
Obecnie wybrane:
Amosi 2: LUG68
Podkreślenie
Kopiuj
Porównaj
Udostępnij
Chcesz, aby twoje zakreślenia były zapisywane na wszystkich twoich urządzeniach? Zarejestruj się lub zaloguj
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.