Logo YouVersion
Icona Cerca

Okubala Ennyanjula

Ennyanjula
Erinnya lino “Okubala” eryatuumiibwa ekitabo kino lyaggyibwa ku kubala abantu okw'emirundi ebiri okw'ogerwako mu kitabo kino (1:2; 26:2). Naye mu Lwebbulaniya erinnya lye kitabo liri, “ Mu Ddungu,” kubanga ebisinga okwogerwako mu kitabo byali mu ddungu.
Ekitabo kino kitegeeza olugendo lwa baana ba Isiraeri lwe batambula okuva ku lusozi Sinaayi okutuuka mu nsenyi za Mowaabu, ku nsalo n'ensi ensuubize Katonda gye yalayirira bajjajjaabwe okubawa. Abaana ba Isiraeri bamala mu ddungu emyaka ana (40) lwa bujeemu (14:21-35).
Ebiri mu kitabo
Ekitabo kino kiyinza okugabanyizibwamu ebitundu bitaano okusinziira ku kutambula kw'abaana ba Isiraeri nga bwe kwali.
I. Abaana ba Isiraeri bateekateeka okuyingira ensi ensuubize (1:1—10:10).
II. Abaana ba Isiraeri batambula okuva ku lusozi Sinaayi okutuuka e Kadesi (10:11—12:16).
III. Okubungetera kw'abaana ba Isiraeri mu ddungu emyaka ana (40) (13:1—19:22).
IV. Okutambula okuva e Kadesi okutuuka mu nsenyi za Mowaabu (20:1—21:35).
V. Abaana ba Isiraeri nga basiisidde mu nsenyi za Mowaabu (22:1—36:13).

Attualmente Selezionati:

Okubala Ennyanjula: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi