Okubala 1
1
Abaana ba Isiraeri bateekateeka okuyingira ensi ensuubize
(1:1—10:10)
Okubala abaana ba Isiraeri okwasooka
1Awo Mukama n'ayogera ne Musa mu ddungu ly'e Sinaayi, mu Weema ey'okusisinkanirangamu, ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogwokubiri, mu mwaka ogwokubiri ng'abaana ba Isiraeri bamaze okuva mu nsi y'e Misiri, ng'agamba nti,#Kuv 19:1; 25:22, Kubal 10:11,12 2“Mubale omuwendo gw'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ng'enda zaabwe bwe ziri, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, era mubale abasajja bonna kinnoomu, muwandiike amannya gaabwe gonna.#Kubal 26:2-51,57-62, 2 Sam 24:1-9, Kuv 30:12; 38:25,26 3Ggwe ne Alooni mujja kubala abasajja bonna mu Isiraeri abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, abasobola okugenda okutabaala, nga mubabalira mu bibinja byabwe. 4Mu buli kika mujja kuvaamu omukulu w'ennyumba ya kitaawe, akole nammwe. 5Era gano ge mannya g'abasajja abanaakola nammwe: okuva mu kika kya Lewubeeni, Erizuuli mutabani wa Sedewuli. 6Okuva mu kika kya Simyoni, Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi. 7Okuva mu kika kya Yuda, Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.#Luus 4:20, Mat 1:1-4 8Okuva mu kika kya Isakaali, Nesaneeri mutabani wa Zuwaali. 9Okuva mu kika kya Zebbulooni, Eriyaabu mutabani wa Keroni. 10Mu baana ba Yusufu: okuva mu Efulayimu, Erisaama mutabani wa Ammikudi; okuva mu Manase, Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. 11Okuva mu kika kya Benyamini, Abidaani mutabani wa Gidiyooni. 12Okuva mu kika kya Ddaani, Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi. 13Okuva mu kika kya Aseri, Pagiyeeri mutabani wa Okulaani. 14Okuva mu kika kya Gaadi, Eriyasaafu mutabani wa Deweri.#Kubal 2:14; 7:42 15Okuva mu kika kya Nafutaali, Akira mutabani wa Enani.” 16Abo be baalondebwa okuva mu kibiina, okubeera abakulu b'ebika bya bakitaabwe; era be bakulembeze b'enkumi za Isiraeri.#Kuv 18:21 17Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaatuddwa amannya, 18ne bakuŋŋaanya ekibiina kyonna ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogwokubiri, ne baatula obuzaale bwabwe ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, abawezezza emyaka abiri (20) n'okukirawo, ng'emitwe gyabwe bwe gyali. 19Nga Mukama bwe yalagira Musa, bw'atyo bwe yababalira mu ddungu ly'e Sinaayi.
20Ab'ekika kya Lewubeeni, omubereberye wa Isiraeri, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; 21abaabalibwa ku bo, mu kika kya Lewubeeni, baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500). 22Ab'ekika kya Simyoni ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; 23abaabalibwa ku bo, mu kika kya Simyoni, baali emitwalo etaano mu kenda mu bisatu (59,300).
24Ab'ekika kya Gaadi ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; 25abaabalibwa ku bo, ku kika kya Gaadi, baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano (45,650).
26Ab'ekika kya Yuda, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; 27abaabalibwa ku bo, mu kika kya Yuda, baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600).
28Ab'ekika kya Isakaali, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; 29abaabalibwa ku bo, mu kika kya Isakaali, baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu bina (54,400).
30Ab'ekika kya Zebbulooni, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; 31abaabalibwa ku bo mu kika kya Zebbulooni, baali emitwalo etaano mu kasanvu mu bina (57,400).
32Mu baana ba Yusufu; okuva mu Efulayimu ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; 33abaabalibwa ku bo, mu kika kya Efulayimu, baali emitwalo ena mu bitaano (40,500).
34Okuva mu kika kya Manase, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, abaali bawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; 35abaabalibwa ku bo, mu kika kya Manase, baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bibiri (32,200).
36Ab'ekika kya Benyamini, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; 37abaabalibwa ku bo, ku kika kya Benyamini, baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu bina (35,400).
38Ab'ekika kya Ddaani, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; 39abaabalibwa ku bo, ku kika kya Ddaani, baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700).
40Ab'ekika kya Aseri, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; 41abaabalibwa ku bo, mu kika kya Aseri, baali emitwalo ena mu lukumi mu bitaano (41,500).
42Ab'ekika kya Nafutaali, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala; 43abaabalibwa ku bo, mu kika kya Nafutaali, baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu bina (53,400).
44Abo be baabalibwa Musa ne Alooni, nga bayambibwako abakulembeze ba Isiraeri ekkumi n'ababiri; buli muntu mu nnyumba ya kitaawe. 45Bwe batyo bonna abaabalibwa ku baana ba Isiraeri ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala mu Isiraeri; 46baali obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano (603,550).#Kuv 12:37; 38:26
47Naye ab'omu kika kya Leevi, tebaabalibwa ng'ebika ebirala.#Kubal 2:33; 3:39; 4:48; 26:62 48Kubanga Mukama yagamba Musa nti, 49“Ekika kya Leevi kyokka kyo tokibalanga, so tobalanga muwendo gwabwe mu baana ba Isiraeri, 50naye Abaleevi obafuule abakulu b'Eweema ey'okusisinkanirangamu, era ab'ebintu byayo byonna ebigenderako. Banaasitulanga Eweema, n'ebintu byayo byonna; era be banaabanga abaweereza mu yo, era banaasiisiranga okugyetooloola.#Kubal 3:4, Kubal 10:14-16 51Era Eweema bw'eneebanga egenda okutambuzibwa, Abaleevi be banaagisimbulanga; era bw'eneebanga esimbibwa, be banaagisimbanga. Munnaggwanga anaagisembereranga anattibwanga.#1 Sam 6:19, 2 Sam 6:6,7 52Era abaana ba Isiraeri banaasimbanga eweema zaabwe, buli muntu okuliraana n'olusiisira lwe ye, era buli muntu okuliraana n'ebendera ye ye, ng'eggye lyabwe bwe liri. 53Naye Abaleevi banaasiisiranga okwetooloola Eweema ey'okusisinkanirangamu, abaana ba Isiraeri baleme okusunguwalirwa; era Abaleevi banaabanga n'omulimu ogw'okukuuma Eweema.”#Kubal 3:7,8; 8:19; 18:3-5 54Abaana ba Isiraeri bwe batyo bwe baakola nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa.
Attualmente Selezionati:
Okubala 1: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.