Logo YouVersion
Icona Cerca

Eby'Abaleevi 27

27
Ebirayiro n'okuwaayo (27:1-34)
1Mukama n'agamba Musa nti, 2“Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti, Omuntu bw'aneeyamanga okuwonga abantu eri Mukama anaasobolanga okutuukiriza obweyamo obwo ng'awaayo emiwendo gy'ensimbi gino:#Kubal 6:2, Ma 23:21, Balam 11:30,31,39, 1 Sam 1:11,28 3Omusajja ow'emyaka abiri (20) okutuusa ku myaka nkaaga (60), omuwendo gw'anaawangayo gunaabanga sekeri za ffeeza ataano (50), nga sekeri y'omuwatukuvu bw'eri.#Kuv 30:13 4Bw'anaabanga omuwala omuwendo gunaabanga sekeri asatu (30). 5Bw'anaabanga omulenzi ow'emyaka etaano okutuuka ku ataano, omuwendo gunaabanga sekeri abiri (20), n'omuwala sekeri kkumi (10). 6Omulenzi ow'omwezi ogumu okutuuka ku myaka etaano, omuwendo gunaabanga sekeri za feeza ttaano n'omuwala sekeri za feeza ssatu. 7Omuwendo gw'omusajja asussa emyaka enkaaga (60), gunaabanga sekeri kkumi na ttaano (15), n'ogw'omukazi sekeri kkumi (10). 8Kyokka oyo eyeeyama bw'anaabanga omwavu, nga tasobola kusasulira muwendo gwa muntu oyo, omuntu gwe yeeyama okuwaayo anaamuleetanga mu maaso ga kabona, n'amusalira omuwendo, ng'asinziira ku ekyo oyo awaayo ky'asobola okusasula.”
9“Obweyamo bwe bunaabanga obw'okuwaayo ensolo ekkirizibwa okuba ekirabo eri Mukama, olwo ebirabo byonna buli muntu by'anaawangayo eri Mukama, binaabanga bitukuvu. 10Taakyusenga kuteekawo ndala, wadde okuwaanyisaamu ennungi mu kifo ky'embi, oba embi mu kifo ky'ennungi. Bw'anaawaanyisangamu emu okuteekawo endala, olwo ensolo zombi zinaabanga za Mukama.#Leev 27:33 11Era bw'eneebanga ensolo yonna eteri nnongoofu, gye batawaayo okuba ekirabo eri Mukama, anaagireetanga mu maaso ga kabona; 12kale kabona anaagikeberanga oba nga nnungi oba nga mbi, era omuwendo gw'anaalamulanga bwe gunaabanga bwe gutyo. 13Naye bw'anaayagalanga okuginunula, kale anaagattangako ekitundu kyayo ekyokutaano ku muwendo ogwagisalirwa.”#Leev 22:14
14“Omuntu bw'anaawangayo ennyumba ye okuba eya Mukama, kabona anaagikeberanga oba nga nnungi oba nga mbi, era omuwendo gw'anaalamulanga bwe gunaabanga bwe gutyo. 15Era oyo eyagitukuza bw'anaayagalanga okununula ennyumba ye, kale anaagattangako ekitundu ekyokutaano eky'ebintu by'olamudde n'eba yiye.”
16“Omuntu bw'anaawangayo ekitundu ky'ettaka lye okuba erya Mukama, kale omuwendo gwalyo gunaabalwanga okusinziira ku bungi bw'ensigo ezigendawo. Ennimiro esigibwamu komeri ya sayiri, omuwendo gwayo gunaabanga sekeri eza feeza ataano (50). 17Bw'anaawangayo ennimiro ye oluvannyuma lw'omwaka gwa jjubiri, enaabanga ku muwendo gwonna ogugiramuliddwa. 18Bw'anaagiwangayo ng'omwaka ogwa jjubiri guweddeko, kabona anaagibaliriranga omuwendo gwayo okusinziira ku myaka egisigaddeyo okutuuka ku mwaka ogwa jjubiri, n'alyoka akendeeza ku muwendo gwayo.#Leev 25:15,16 19Oyo eyagiwaayo eri Mukama bw'anaayagalanga okuginunula, anaagattangako ekitundu ekyokutaano eky'omuwendo ogwagisalirwa. 20Bw'ataayagalenga kuginunula, oba bw'anaagiguzanga omuntu omulala nga tannaginunula, eneebanga tekyayinza kununulibwa. 21Naye ennimiro bw'eneetuusanga jjubiri nga tenunuddwa eneebanga ya Mukama, era kabona anaagitwalanga.”#Leev 25:10,28,31, Kubal 18:14, Ez 44:29
22“Omuntu bw'anaawangayo ennimiro eri Mukama gye yagula obuguzi, nga si ya butaka bwe, 23kabona anaamubaliranga omuwendo gw'ensimbi ogugigyamu, okusinziira ku myaka egisigaddeyo okutuuka ku jjubiri, era agiwaddeyo anaasasulanga omuwendo ogwo okuba ogwa Mukama. 24Mu mwaka gwa jjubiri ennimiro eneddanga eri oyo eyagitunda, ye nannyini butaka obw'ennimiro.”#Leev 25:28
25“Okulamula kwonna kunaabanga ng'omuwendo gwa sekeri ogw'omuwatukuvu bwe guli. Gera abiri (20) zinaabanga sekeri emu.”#Kuv 30:13
26“Ensolo en'eggulanga enda oba nte oba ndiga, eba ya Mukama; teweebwangayo nga kiweebwayo.#Kuv 13:2 27Era bw'eneebanga ensolo eteri nnongoofu, kabona anaagiramulanga nga bw'alaba, era eneenunulwanga nga egattibwako ekitundu ekyokutaano eky'omuwendo ogwagisalirwa. Bw'eteenunulibwenga, eneetundibwanga ng'omuwendo gwayo bwe guli.”
28“Ku ebyo byonna omuntu bye yeeyama okuwaayo eri Mukama, oba muntu, oba nsolo, oba nnimiro, tebitwalibwanga era tebitundibwanga era tebinunulwanga; bya Mukama.#Yos 6:17-19, Balam 11:30,31, 1 Sam 15:21 29Ne bw'abeeranga muntu eyawongebwa eri Mukama, tanunulibwanga, wabula attibwenga buttibwa.”#Kubal 21:2,3
30“Era ebitundu byonna eby'ekkumi eby'ensi, oba nga bya nsigo za nsi, oba nga bya bibala bya muti, bya Mukama; biba bitukuvu eri Mukama.#Lub 28:22, Kubal 18:24, 2 Byom 31:5, Mal 3:8,10 31Era omuntu bw'anaayagalanga okununula ku bitundu bye eby'ekkumi, anaagattangako ekitundu kyabyo ekyokutaano. 32Era ebitundu byonna eby'ekkumi eby'ente oba eby'endiga, buli eyita wansi w'omuggo, ebitundu eby'ekkumi binaabanga bitukuvu eri Mukama.#Yer 33:13, Ez 20:37 33Takeberanga oba nga nnungi oba nga mbi so tagiwaanyisanga, n'okuwaanyisa bw'anaagiwaanyisanga, kale eyo era n'eri ezze mu kifo kyayo zombi zinaabanga ntukuvu, tenunulibwanga.”#Leev 27:10
34Ebyo bye biragiro, Mukama bye yawa Musa olw'abaana ba Isiraeri ku lusozi Sinaayi.#Leev 26:46

Attualmente Selezionati:

Eby'Abaleevi 27: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi