Logo YouVersion
Icona Cerca

Eby'Abaleevi 26

26
Emikisa n'ebikolimo
(26:1-46)
1“Temwekoleranga bifaananyi, so temwesimbiranga kifaananyi kyole, newakubadde ejjinja eriri mu butonde bwalyo, newakubadde ejjinja eryole okubivuunamiranga; kubanga nze Mukama Katonda wammwe.#Kuv 20:4,5; 23:24, Leev 19:4, Kubal 33:52 2Mwekuumanga Ssabbiiti zange, ne mussangamu ekitiibwa awatukuvu wange: Nze Mukama.#Leev 19:30
3“Bwe munaatambuliranga mu mateeka gange ne mwekuumanga ebiragiro byange ne mubikola;#Ma 11:13-15, Ez 34:25-27 4kale naabawanga enkuba yammwe mu ntuuko zaayo, n'ensi eneebalanga ekyengera kyayo, n'emiti egy'omu nnimiro ginaabalanga ebibala byagyo. 5Ebirime byammwe binaabalanga nnyo, ne muwuulanga eŋŋaano okutuuka ku kunoga emizabbibu, n'okunoga ne kutuuka mu kiseera eky'okusigiramu eŋŋaano. Munaalyanga emmere ne mukkuta.#Am 9:1 6Nabawanga emirembe mu nsi, era muneebakanga nga tewali abatiisa, era ndimalawo ensolo embi mu nsi, so tewaabenga ntalo mu nsi yammwe.#1 Bassek 4:25, Is 35:9, Yer 30:10, Zef 3:13 7Bwemunaalumbibwanga abalabe munaabattanga n'ekitala. 8Era abataano ku mmwe banaagobanga ekikumi, n'ekikumi ku mmwe banaagobanga omutwalo; n'abalabe bammwe munaabattanga n'ekitala.#Yos 23:10 9Era naabassangako omwoyo, ne muzaala, ne mwala; era naanywezanga endagaano yange nammwe.#Lub 17:6,7, 2 Bassek 13:23 10Era munaalyanga ku bye mwakungula edda bye mwatereka, era munaafulumyanga ebyo ebinaabanga bikyasigaddewo olw'okuyingiza ebiggya. 11Era nnaabeeranga mu mmwe; so siibakyawenga.#Ez 37:26-28, Kub 21:3 12Era nnaabeereranga ddala mu mmwe, ne mbeera Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange.#Kuv 6:7; 29:45, Yer 7:23, Ez 11:20, 2 Kol 6:16 13Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi ey'e Misiri, muleme okuba abaddu baabwe; era nnagyawo ebisiba eby'ekigoligo kyammwe, ne mbatambuza nga muli ba ddembe.”#Leev 25:38, Ez 34:27
Ebibonerezo by'abajeemu
(Ma 28:15-68)
14“Naye bwe mutampulirenga, ne mutakola biragiro bino byonna;#Ma 28:15-68 15era bwe munaagaananga amateeka gange, ne mukyawa ebiragiro byange byonna era ne muleka endagaano yange;#2 Bassek 17:15 16nange nnaabakolanga bwe nti: nnaalagiranga entiisa okubeera ku mmwe, omusujja n'endwadde ezitawonyezeka biribaziba amaaso nezikoozimbya obulamu bwammwe. Munaasigiranga busa ensigo zammwe, kubanga abalabe bammwe banaaziryanga. 17Era nnaabavangako, nammwe munaawangulwanga abalabe bammwe, ababakyawa be banaabafuganga; era munaddukanga nga tewali abagoba.”#Ma 28:25, Zab 106:41, Nge 28:1
18“Ebyo byonna bwe binaamalanga okubaawo, era ne mutampulira, ekibonerezo kyammwe nnaakyongerangako emirundi musanvu olw'ebibi byammwe. 19Era nnaggyangawo amalala n'okwegulumiza kwammwe, era nnaalagiranga enkuba obutatonnya ku ttaka lyammwe, ne lifuuka olukalajje.#Ma 28:23, Is 25:11 20Amaanyi gammwe ganaagenderanga busa; kubanga ensi yammwe teebalenga kyengera kyayo, so n'emiti egy'omu nsi tegiibalenga bibala byagyo.#Is 49:4, Kag 1:10 21Era bwe munaayongeranga okutambulira mu bukakanyavu bwammwe ne mutampulira, ndyongera emirundi musanvu okubaleetako ebibonyoobonyo ng'ebibi byammwe bwe binaabanga. 22Era naabasindikiranga ensolo ez'omu nsiko, ezinaabanyagangako abaana bammwe, era ezinaazikirizanga ebisibo byammwe, era ezinaabakendeezanga; n'amakubo gammwe ganaazikanga.”#Ma 32:24, Is 33:8, Ez 14:15, Zek 7:14
23“Era n'ebyo bwe binaalemwanga okubakomyawo gye ndi, ne mweyongera okubeera abakakanyavu gye ndi,#Yer 5:3 24nange nnaabeeranga mukakanyavu gye muli era nze mwene, nnaabakubanga emirundi musanvu olw'ebibi byammwe.#Zab 18:26 25Nnaabaleeteranga entalo okubonereza eggwanga lyammwe lye nnakola nalyo endagaano. Era bwe muneekuŋŋaanyizanga awamu mu bibuga byammwe okwetaasa, nnaabasindikangamu kawumpuli, era munaawangulwanga abalabe bammwe.#Ma 28:21, Yer 24:10, Ez 14:17,19, Am 4:10 26Bwe nnaaleetanga enjala mu mmwe, abakazi ekkumi (10) baneetaaganga ekyoto kimu okufumbirako emmere. Banagipimanga, ne mugirya yonna, naye ne mutakutta.”#Zab 105:16, Is 9:20, Ez 4:16
27“Era n'ebyo bwe binaalemwanga okubakomyawo gyendi, ne mweyongera okubeera abakakanyavu gyendi; 28nange n'abeeranga mukakanyavu gye muli; era nnaababonerezanga n'ekiruyi emirundi musanvu olw'ebibi byammwe.#Is 66:15 29Munaalumwanga nnyo enjala, ne mutuuka n'okulyanga abaana bammwe.#Ma 28:53, 2 Bassek 6:29 30Era nnaazikirizanga ebifo byammwe ebigulumivu, ne nsuulira ddala ebifaananyi byammwe eby'enjuba bye musinza, n'emirambo gyammwe ginaagwanga ku bifaananyi byammwe, era n'obulamu bwange bunaabakyawanga.#2 Byom 34:3,4,7, Ez 6:3-5 31Naazisanga ebibuga byammwe, era nnaafuulanga ebifo byammwe bye musinzizaamu okuba amalungu; siisanyukirenga kaloosa ak'ebiweebwayo byammwe.#Nek 2:3, Zab 74:3,6-8, Yer 6:20; 22:5; 26:6,9 32Era nnaafuulanga ensi yammwe eddungu; n'abalabe bammwe abalijja okugibeeramu banaagyewuunyanga.#1 Bassek 9:8, Yer 9:11; 25:11 33Nammwe nnaabasaasaanyanga mu mawanga, ne nsowola ekitala okubagoberera; n'ensi yammwe eneebanga ddungu, n'ebibuga byammwe binaazikanga.#Ma 4:27; 28:64, Nek 1:8, Yer 9:16, Ez 12:15; 20:23, Zek 7:14 34Awo ensi n'eryokanga esanyukira ennaku zaayo ez'okuwummuza ettaka, naye nga mmwe muwaŋŋangukidde mu nsi ey'abalabe bammwe.#Leev 25:2, 2 Byom 36:21 35Ensi eneezikanga n'eba n'okuwummula kw'etandibadde nakwo nga mukyagirimu. 36N'abo abanaasigalangawo ku mmwe, banaakeŋŋentererwanga mu mitima, era n'akakoola akagwa kanaabaddusanga. Banaddukanga ng'omuntu bw'adduka olutalo, era banaagwanga nga tewali abagoba.#Lub 35:5, Leev 26:17, Yos 2:9,11, Ez 21:7 37Era banaalinnyagananga bokka na bokka, ng'abadduka olutalo, nga tewali abagoba; so tebaabenga na maanyi okuyimirira mu maaso g'abalabe baabwe.#Yos 7:12,13, Balam 2:14 38Era munaafiiranga mu mawanga, n'ensi y'abalabe bammwe eneebalyanga. 39N'abo abanaasigalangawo ku mmwe banaakenenanga mu nsi y'abalabe baabwe olw'obutali butuukirivu bwabwe n'obwa bajjajjaabwe.”#Ma 28:65, Ez 4:17, Kuv 30:13
40“Naye bwe banaayatulanga obutali butuukirivu bwabwe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjaabwe bwe bansobyako nga tebatambula nange;#Kubal 5:6,7, 1 Bassek 8:33, Nek 9:2, Nge 28:13 41ekyandeetera okubaleka okuwangulwa abalabe baabwe; naye bwe baneetoowazanga mu mitima gyabwe, ne bategeere okusobya kwabwe okw'obutali butuukirivu bwabwe,#1 Bassek 21:29 42awo ne ndyoka njijukira endagaano yange gye nnalagaana ne Yakobo ne Isaaka, ne Ibulayimu; era najjukiranga ensi yaabwe.#Kuv 2:24, Zab 106:45, Ez 16:60 43Era ensi eneewummulanga n'ezika olw'okubonerezebwa okw'obutali butuukirivu bwabwe, olw'okugaana okukwata ebiragiro byange n'amateeka gange.#Leev 26:34 44Newakubadde ebyo binaabanga bwe bityo, bwe banaabanga mu nsi y'abalabe baabwe siibaviirengako ddala, siibakyawenga era siibazikiririzenga ddala, olw'endagaano yange gye nnalagaana nabo; kubanga Nze Mukama Katonda waabwe.#Ma 4:31, 2 Bassek 13:23 45Ku lwabwe, najjukiranga endagaano gye nnalagaana ne bajjajjaabwe, be najja mu nsi ey'e Misiri mu maaso g'amawanga, ndyoke mbeerenga Katonda waabwe: Nze Mukama.”#Leev 22:33, Ez 20:9
46Ago ge mateeka n'ebiragiro Mukama bye yassaawo wakati we n'abaana ba Isiraeri, ku lusozi Sinaayi ng'ayita mu Musa.#Ma 6:1; 12:1

Attualmente Selezionati:

Eby'Abaleevi 26: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi