Ekyamateeka Olwokubiri Ennyanjula
Ennyanjula
Ekitabo kino ekiyitibwa Ekyamateeka Olwokubiri kirimu okwogera kwa Musa eri abaana ba Isiraeri bwe baali emitala w'omugga Yoludaani nga tebannaba kuyingira mu nsi Katonda gye yasuubiza bajjajjaabwe. Bye bigambo bya Musa ebyasembayo alyoke afe, Katonda yennyini amwezikire. Musa ayogera ebigambo bino oluvannyuma lw'emyaka ana (40) abaana ba Isiraeri gye bamala mu ddungu olw'obujeemu. Kati ayogera eri abaana n'abazzukulu baabo abaava e Misiri kubanga bonna abaava e Misiri abaali bassussa e myaka abiri (20) okuggyako Yoswa ne Kolebu baafiira mu ddungu. Musa yalina okutegeeza omugigi omupya ogw'abaana ba Isiraeri amateeka n'ebiragiro Katonda bye yawa bajjajjaabwe ku lusozi Sinaayi. Kubanga Musa addamu okutegeeza amateeka, ekitabo kye kiva kiyitibwa Ekyamateeka Olwokubiri.
Ebiri mu kitabo
I. Ekitundu ekisooka eky'okwogera kwa Musa: Ayogera ku byatuuka ku baana ba Isiraeri nga bava e Misiri (1:1—4:43)
II. Ekitundu ekyokubiri eky'okwogera kwa Musa: ayogera ku Mateeka Ekkumi (4:44—11:32).
III. Ekitundu ekyokubiri eky'okwogera kwa Musa: Ayogera ku mateeka amalala n'ebiragiro (12:1—26:19)
IV. Ekitundu ekyokusatu eky'okwogera kwa Musa: ayogera ku mikisa n'ebikolimo (27:1—28:68).
V. Ekitundu ekyokusatu eky'okwogera kwa Musa: Ayogera ku bintu ebirala ebitali bimu (29:1—30:20).
VI. Ebisembayo ebya Musa (31:1—34:12).
Attualmente Selezionati:
Ekyamateeka Olwokubiri Ennyanjula: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.