Okubala 36
36
Obusika bw'abakazi abafumbo
1Awo abakulu b'ennyumba mu lulyo lw'abo abasibuka mu Gireyaadi, mutabani wa Makiri era muzzukulu wa Manase, omu ku batabani ba Yusufu, ne bajja eri Musa n'abakulembeze abalala Abaisiraeri;#Kubal 26:29 2ne bagamba Musa nti, “ Ssebo, Mukama yakulagira okugabira Abaisiraeri ensi okuba obutaka bwabwe obw'ensikirano ng'okuba akalulu. Mukama era yakulagira, obutaka obw'ensikirano obwa muganda waffe Zerofekadi okubuwa bawala be.#Kubal 26:55; 27:1,7, Yos 17:3,4 3Bwe balifumbirwa abasajja ab'ebika ebirala eby'Abaisiraeri, obutaka bwabwe obw'ensikirano buliggyibwa ku butaka obw'ensikirano obwaweebwa bakitaffe, ne bugattibwa ku butaka obw'ensikirano obw'ebika ebirala bye balifumbirwamu, ekyo ne kikendeeza ku butaka bwaffe obw'ensikirano. 4Omwaka ogwa jjubiri ogw'abaana ba Isiraeri bwe gulituuka, kale obutaka obw'ensikirano obwa bawala ba Zerofekadi buligattirwa ddala ku butaka obw'ensikirano obw'ekika mwe baliba bafumbiddwa, bwe butyo ne buggyibwa ku butaka obw'ensikirano obw'ekika kyaffe.”#Leev 25:10 5Musa n'alagira abaana ba Isiraeri nga Mukama bwe yamugamba. N'agamba nti, “ Ab'ekika kya batabani ba Yusufu boogera bya nsonga. 6Kino kye kigambo Mukama ky'alagira ku bawala ba Zerofekadi nti, ‘Ba ddembe okufumbirwa gwe basiimye, kyokka bafumbirwe ba mu kika kya kitaabwe. 7Tewaabenga butaka bwa nsikirano mu baana ba Isiraeri obunaakyukanga okuggyibwa mu kika ekimu ne buzzibwa mu kirala. Buli mwana wa Isiraeri anaakuumanga obutaka obw'ensikirano obw'ekika kya kitaawe.#1 Bassek 21:3 8Buli muwala anaafunanga obutaka obw'ensikirano mu kika eky'Abaisiraeri, anaafumbirwanga musajja wa mu kika ekyo, olwo abaana ba Isiraeri basobolenga okufuna ku butaka bwa kitaabwe.#1 Byom 23:22 9Bwe kityo tewaabengawo busika bwonna obunaakyukanga okuva mu kika ekimu okudda mu kirala. Buli kika eky'abaana ba Isiraeri kinaakuumanga obutaka bwakyo obw'ensikirano.’ ” 10Nga Mukama bwe yalagira Musa, bwe batyo bawala ba Zerofekadi bwe baakola. 11Maala, Tiruza, Kogula, Mirika, ne Noowa, bawala ba Zerofekadi, ne bafumbirwa batabani ba baganda bakitaabwe. 12Baafumbirwa ku nda za batabani ba Manase, mutabani wa Yusufu; obutaka bwabwe ne bubeeranga mu kika eky'enda ya kitaabwe.
13Ago ge mateeka n'ebiragiro Mukama bye yawa abaana ba Isiraeri ng'ayita mu Musa, mu nsenyi z'e Mowaabu, ku Yoludaani, okwolekera Yeriko.#Kubal 22:1; 26:3; 33:50; 35:1
Attualmente Selezionati:
Okubala 36: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.