Logo YouVersion
Icona Cerca

Ekyamateeka Olwokubiri 1

1
Ekitundu ekisooka eky'okwogera kwa Musa: Ayogera ku byatuuka ku baana ba Isiraeri nga bava e Misiri
(1:1—4:43)
Ebigambo bya Musa ebyanjula
1Bino bye bigambo Musa bye yagamba Isiraeri yenna, nga bali mu ddungu Alaba, ku ludda olw'ebuvanjuba bw'omugga Yoludaani. Baali mu kiwonvu kyagwo okumpi ne Sufu, wakati wa Palani ku ludda olumu, ne Toferi, Labani, Kazerosi ne Dizakabu ku ludda olulala.#Yos 3:16; 11:2 2Waliwo olugendo lwa nnaku kkumi na lumu (11) okuva e Kolebu, okuyita mu nsi ya Seyiri ey'ensozi, okutuuka e Kadesubanea. 3Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ana (40), mu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu (11), ku lunaku olw'omwezi ogwolubereberye, Musa n'ategeeza abaana ba Isiraeri byonna Mukama bye yamulagira okubabuulira.#Kubal 33:38 4Bino byabaawo ng'amaze okuwangula Sikoni, kabaka w'Abamoli, eyabeeranga e Kesuboni, ne Ogi kabaka w'e Basani, eyabeeranga mu Asutaloosi, ekiri mu Ederei.#Kubal 21:21-35 5Emitala w'omugga Yoludaani, mu nsi ya Mowaabu, Musa gye yatandikira okunnyonnyola amateeka gano, n'agamba nti, 6“Nga tuli ku lusozi Kolebu, Mukama Katonda waffe yayogera naffe ng'agamba nti, ‘Muludde nnyo ku lusozi luno.#Kuv 19:2, Kubal 10:11,12 7Musituke, mutambule, mugende mu nsi ey'ensozi ey'Amoli, ne mu bifo byonna ebiriraanyeewo, mu Alaba, mu nsi ey'ensozi, ne mu nsi ey'olusenyi, ne mu bukiikaddyo, ne ku ttale ly'ennyanja, ensi y'Abakanani, ne Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene Fulaati. 8Ensi yiiyo ngibalaze, muyingire mugirye, y'ensi Mukama gye yalayirira okuwa bajjajjammwe Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo ne bazzukulu baabwe.’ ”#Lub 12:7; 26:3; 28:13; 50:24
Musa ayogera ku kulondebwa kw'Abalamuzi
(Kuv 18:13-27)
9Musa n'agamba abantu nti, “Nange mu kiseera ekyo n'abagamba mmwe nti, ‘Sisobola kubakulembera nzekka.#Kuv 18:18, Kubal 11:14 10Mukama Katonda wammwe abaazizza, laba, leero muli ng'emmunyeenye ez'oku ggulu obungi.#Lub 15:5 11Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, abaaze emirundi lukumi (1,000) okusinga nga bwe muli kati, era abawe omukisa, nga bwe yabasuubiza.#Lub 12:2; 26:24 12Naye nze nzekka nsobola ntya okwetikka obuvunaanyizibwa obwenkanidde awo, obw'okubalabirira n'okutawulula ennyombo n'enkaayana zammwe?’#1 Bassek 3:8,9 13Ne mbagamba nti, ‘mulonde abasajja abagezi, abategeevu era abamanyifu mu bika byammwe, abo mbafuule abakulembeze bammwe.’ 14Ne munziramu nti, ‘Kirungi, tukole nga bw'ogambye.’ 15Kale ne nzirira abakulembeze abagezi era abamalirivu, ne mbafuula abakulembeze ab'enkumi, n'ebikumi, n'abataano, n'ab'amakumi, era n'abamyuka, ng'ebika byammwe bwe biri.”#Kuv 18:25
16“Era n'akuutira abalamuzi bammwe mu biro ebyo, nga njogera nti, ‘Muwulirizenga ensonga, musalenga mu bwenkanya emisango egy'abantu b'eggwanga lyonna, era n'egyo egya bannamawanga ababeera mu mmwe.#Leev 24:22, Ma 16:18, Yok 7:24 17Bwe munaasalanga emisango, temusalirizanga, munaawuliranga abato n'abakulu kyenkanyi; temutyanga maaso ga muntu, kubanga omusango gwa Katonda; era ensonga eneebalemanga mugireetenga gye ndi, nange nnaagiwuliranga.’#Kuv 18:22,26; 23:2,3, Leev 19:15, Ma 16:19, Nge 24:23, Yak 2:1 18Era mu kiseera ekyo, nnabalagira byonna bye musaana okukola.”
Abakessi batumibwa okuva e Kadesubanea
(Kubal 13:1-33)
19“Awo ne tutambula okuva e Kolebu, ne tuyita mu ddungu liri lyonna eddene ery'entiisa lye mwalaba, mu kkubo eriyita mu nsi ey'ensozi ey'Abamoli, nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira; ne tutuuka e Kadesubanea.#Kubal 10:12; 13:26, Ma 8:15 20Ne mbagamba nti, ‘Mutuuse mu nsi ey'ensozi ey'Abamoli, Mukama Katonda waffe gy'atuwa. 21Laba, Mukama Katonda wo atadde ensi mu maaso go; yambuka ogitwale ogituulemu nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakugamba; totya so tokankana.’ ”#Ma 31:8, Yos 1:9
22“Mwenna ne mujja gye ndi ne mwogera nti, ‘Tusooke tutumeyo abantu batukettere ensi eyo, bakomewo batubuulire ekkubo lye tunaayitamu, era n'ebibuga bye tunaasangayo nga bwe biri.’ ”
23“Ekigambo ekyo ne kinsanyusa nnyo; ne nnonda mu mmwe abantu kkumi na babiri (12), omuntu omu okuva mu buli kika;#Kubal 13:2 24ne bagenda ne bambuka ku lusozi, ne batuuka mu kiwonvu ekya Esukoli, ne bakiketta.#Kubal 13:22-27 25Ne banogayo ku bibala, ne babituleetera. Ne batubuulira nti, ‘Ensi Mukama Katonda waffe gy'atuwa, nnungi.’
26“Naye mmwe ne mutakkiriza kugendayo, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe; 27ne mwemulugunyiza mu weema zammwe, nga mugamba nti, ‘Mukama yatukyawa, kyeyava atuggya mu nsi ey'e Misiri, okutugabula mu mikono gy'Abamoli okutuzikiriza.#Kubal 14:1-4, Ma 9:28 28Twambuka wa? Baganda baffe batumazeemu amaanyi era batutiisizza,’ nga boogera nti, ‘abantu baayo banene, bawanvu okusinga ffe; ebibuga binene, byazimbibwako ebigo ebigulumivu ennyo; era twalabayo abaana ba Abanaki.’ ”#Kubal 13:28-33
29“Awo ne ndyoka mbagamba nti, ‘Temubatya so temutekemuka 30Mukama Katonda wammwe abakulembera ye anaabalwaniriranga, nga bwe mwalaba byonna bye yabakolera e Misiri;#Kuv 14:14,25 31era ne mu ddungu mwalaba Mukama Katonda wammwe bwe yabasitula, ng'omusajja bw'asitula omwana we, mu kkubo lyonna lye mwayitamu, okutuusa lwe yabatuusa mu kifo kino.’#Is 46:3,4; 63:9, Kos 11:3 32Naye newakubadde Mukama yabakolera ebyo byonna, temwamwesiga,#Kubal 14:11, Zab 106:24 33eyabakulemberanga okubanoonyeza ekifo eky'okusiisiramu. Yasinziiranga mu mpagi ey'omuliro ekiro, ne mu mpagi ey'ekire emisana, okubalaga ekkubo lye munaayitamu.”#Kuv 13:21, Kubal 10:33
Mukama abonereza Isiraeri
(Kubal 14:20-25)
34“Mukama n'awulira bye mwayogera, n'asunguwala, n'alayira ng'ayogera nti,#Kubal 14:20-30, Yos 14:9, Beb 3:18 35‘Mazima tewalibaawo n'omu ku bantu bano ab'emirembe gino emibi aliyingira mu nsi eyo ennungi, gye nneerayirira okuwa bajjajjaabwe; 36okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ndi muyingiza mu nsi gye yaketta, ye n'abaana be, kubanga yeesiga Mukama mu byonna.’ 37Nange Mukama n'ansunguwalira ku lwammwe, ng'ayogera nti, ‘Naawe toligiyingiramu.#Kubal 20:12 38Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wo oyo ye aligiyingiramu; mugumye omwoyo; kubanga ye yaligigabira abaana ba Isiraeri.’ ”#Kuv 24:13, Ma 31:7,23
39“Era abaana bammwe abo, abatannayawula kirungi na kibi, be mwagamba nti, ‘Balinyagibwa,’ be baliyingira mu nsi eyo.#Kubal 14:3,31 40Naye mmwe mukyuke mutambule nga mudda mu ddungu, nga mukutte ekkubo eriraga ku Nnyanja Emmyufu.”#Kubal 14:25
41“Naye ne muddamu ne muŋŋamba nti, ‘Tusobezza Mukama; ka twambuke tulwane nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira.’ Buli muntu n'akwata eby'okulwanyisa bye, ne mwambuka nga mulowooza nti kyangu okulwanira mu nsi ey'ensozi.”#Kubal 14:40-45
42“Awo Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Bagambe nti temugenda so temulwana, kubanga Nze siri wamu nammwe. Abalabe bammwe bajja kubawangula.’ 43Awo ne njogera nammwe, naye ne mutawulira; nga mujjudde amalala, ne mujeemera ekiragiro kya Mukama ne mwambuka ku lusozi mulwane. 44Awo Abamoli abaatuulanga ku lusozi olwo, ne bafuluma okubalumba nga bataamye ng'enjuki, ne babagoba ne babakuba okuva e Seyiri okutuusa e Koluma. 45Ne mukomawo ne mukaabirira Mukama abayambe. Naye Mukama n'atabawuliriza era n'atabafaako. 46Kye mwava mutuula mu Kadesi okumala ennaku nnyingi.”#Kubal 13:25,26; 20:1

Attualmente Selezionati:

Ekyamateeka Olwokubiri 1: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi