Logo YouVersion
Icona Cerca

Ekyamateeka Olwokubiri 7

7
Eggwanga lya Katonda eddonde
1Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gy'ogenda okubeeramu, n'agobamu amawanga mangi: Omukiiti, n'Omugirugaasi, n'Omwamoli, n'Omukanani, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi, amawanga musanvu agakusinga obukulu n'amaanyi;#Kuv 23:23, Ma 4:38 2era Mukama Katonda wo bw'alibakuwa n'obawangula, n'obatta, obasaanyinzangawo ddala, tolagaananga nabo endagaano yonna, so tobalaganga kisa.#Kuv 23:32, Kubal 21:2,3, Balam 2:2 3Temufumbiriganwenga nabo, bawala bammwe temuubawenga batabani baabwe kubawasa, era ne bawala baabwe temuubawasizenga batabani bammwe.#Kuv 34:16, Yos 23:12,13, 1 Bassek 11:2, Ezer 9:2 4Kubanga bwe mulikikola, ab'amawanga ago balikyusa abaana bammwe ne babaggya ku Mukama, ne basinza bakatonda abalala, Mukama n'abasunguwalira mmwe, era n'abazikiriza mangu ago. 5Naye munaabakolanga bwe muti: munaamenyamenyanga ebyoto byabwe, munaabetentanga n'empagi zaabwe, munaatemaatemanga ne Baasera baabwe, n'ebifaananyi byabwe ebyole munaabyokyanga omuliro.#Kuv 34:13, Ma 7:25 6Kubanga gw'oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo: Mukama Katonda wo yakulonda okuba eggwanga ery'envuma gy'ali okusinga mawanga gonna agali mu nsi.#Kuv 19:5,6, Zab 135:4, Am 3:2, 1 Peet 2:9 7Mukama teyabassaako kwagala kwe, so teyabalonda, kubanga mwasinga eggwanga lyonna obungi; kubanga mwali batono okusinga amawanga gonna: 8naye kubanga Mukama abaagala, era kubanga ayagala okutuukiriza ekirayiro kye yalayirira bajjajjammwe, Mukama kyeyava abanunula okuva mu mukono gwa Falaawo Kabaka wa Misiri, mu nnyumba ey'obuddu, n'abaggyayo n'omukono ogw'amaanyi.#Kuv 32:13, Ma 10:15, Zab 105:8,9, Kos 11:1 9Kale Tegeera nga Mukama Katonda wo ye Katonda yekka omwesigwa, akuuma endagaano ye era asaasira abo abamwagala era abeekuuma ebiragiro bye emirembe gyonna.#Kuv 20:6, Nek 1:5, Is 49:7, Dan 9:4, 1 Kol 1:9; 10:13, 2 Kol 1:18, 1 Bas 5:24, 2 Bas 3:3, 2 Tim 2:13, Beb 10:23; 11:11, 1 Yok 1:9 10Asasula abo abamukyawa n'ababonereza ng'abazikiriza.#Is 59:18, Nak 1:2, 2 Peet 3:9 11Kale weekuumenga amateeka n'ebiragiro ebyo bye nkulagira leero, okubikolanga.
Emikisa gy'okugondera ebiragiro bya Katonda
12Bwe munassangayo omwoyo ku biragiro bino ne mubikwata era ne mubikola, Mukama Katonda wammwe anaatuukirizanga endagaano ye n'okusaasira bye yalayirira bajjajjammwe, 13era anaakwagalanga, anaakuwanga omukisa, anaakwazanga: anaawanga omukisa ennimiro zammwe ne mufuna eŋŋaano, envinnyo, n'amafuta ag'emizeyituuni. Anaayazanga amagana go ag'ente, ag'embuzi n'agendiga, mu nsi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa mmwe.#Ma 28:4; 30:9, Yok 14:21 14Muliweebwa omukisa okusinga amawanga amalala gonna. Mu mmwe temuubeenga musajja oba mukazi mugumba, wadde ekisolo ekitazaala mu magana gammwe. 15Mukama anaakukuumanga eri endwadde zonna, taakussengako n'emu ku ndwadde embi ez'e Misiri z'omanyi; naye anaazissanga ku abo bonna abakukyawa.#Kuv 9:14; 15:26, Ma 28:60 16Muzikirizenga ab'amawanga gonna, Mukama Katonda wammwe g'anaagabulanga mu mikono gyammwe. Temuubakwatirwenga kisa. Temuusinzenga bakatonda baabwe, kubanga ekyo mmwe kiribafuukira omutego.#Zab 106:36 17Toyogeranga mu mutima gwo nti amawanga gano gansinga obungi; siyinza kubawangula. 18Tobatyanga. Ojjukiranga Mukama Katonda wo bye yakola Falaawo, ne Misiri yonna.#Zab 77:11; 105:5; 135:8-9 19Ojjukiranga ebibonyoobonyo, n'eby'amagero, n'omukono ogw'amaanyi, bye walaba; Mukama Katonda wo bye yakozesa okubanunula. Bw'atyo Mukama Katonda wo bw'anaakolanga amawanga gonna g'otya. 20Era Mukama Katonda wo anaasindikanga ennumba mu bo, okutuusa lw'alizikiriza abo abaliba basigaddewo nga babeekwese mmwe.#Kuv 23:28, Yos 24:12 21Tobatyanga; kubanga Mukama Katonda wo ali naawe mukulu era wa ntiisa.#Kubal 14:14; 16:3, Ma 10:17, Yos 3:10, Nek 1:5; 4:14; 9:32 22Era Mukama Katonda wo anaagobanga amawanga agali mu mmwe kinnalimu; temubamalangawo mulundi gumu, ensolo ez'omu nsiko zireme okubasukkirirako obungi.#Kuv 23:29,30 23Naye Mukama Katonda wo anaabawangayo mu mikono gyo, era anaabeeraliikirizanga nnyo, okutuusa lwe balizikirira. 24Era bakabaka baabwe anaabawangayo mu mukono gwo, n'obazikiriza ne beerabirwa mu nsi. Tewaabenga muntu anaayinzanga kukuziyiza kubazikiriza.#Ma 9:14; 11:25, Yos 1:5; 10:8; 12:1; 23:9 25Ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe munaabyokyanga omuliro. Teweegombanga ffeeza newakubadde zaabu abiriko, so tobyetwaliranga bireme kukufuukira mutego, kubanga bya mizizo eri Mukama Katonda wo.#Kuv 20:17, Ma 12:3, Yos 7:1,21, 1 Byom 14:12 26Toleetanga kintu kya muzizo mu nnyumba yo, naawe oleme kufuuka eyakolimirwa nga kyo, naye onokikyayiranga ddala, era onookitamirwanga ddala; kubanga kintu ekyakolimirwa.#Leev 27:28, Ma 13:17, Yos 6:17,18

Attualmente Selezionati:

Ekyamateeka Olwokubiri 7: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi