Mukama Katonda wammwe abakulembera ye anaabalwaniriranga, nga bwe mwalaba byonna bye yabakolera e Misiri; era ne mu ddungu mwalaba Mukama Katonda wammwe bwe yabasitula, ng'omusajja bw'asitula omwana we, mu kkubo lyonna lye mwayitamu, okutuusa lwe yabatuusa mu kifo kino.’