1
MATAYO 7:7
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
“Musabe, muliweebwa. Munoonye, mulizuula. Mukonkone ku luggi, muliggulirwawo
2
MATAYO 7:8
kubanga buli asaba afuna, oyo anoonya azuula, n'oyo akonkona ku luggi aggulirwawo.
3
MATAYO 7:24
“Buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'abikolerako, aliba ng'omusajja ow'amagezi, eyazimba ennyumba ye ku lwazi
4
MATAYO 7:12
“Kale nno byonna bye mwagala abalala babakolere mmwe, nammwe mubibakolerenga. Ekyo Amateeka n'enjigiriza y'abalanzi kye bitegeeza.
5
MATAYO 7:14
Omuzigo oguyingira mu bulamu mufunda, n'ekkubo erituukayo lya kanyigo, n'abali zuula batono.
6
MATAYO 7:13
“Muyingirire mu muzigo omufunda, kubanga omuzigo oguyingira mu kuzikirira gwo mugazi, n'ekkubo erituukayo ddene, era bangi abaliyitamu.
7
MATAYO 7:11
Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ow'omu ggulu talisingawo nnyo okuwa ebirungi abo ababimusaba?
8
MATAYO 7:1-2
“Temusalanga musango, nammwe guleme kubasalirwa. Kubanga, nga bwe musalira abalala omusango, nammwe bwe gulibasalirwa. Era ekipimo kye mukozesa okupimira abalala, kye kirikozesebwa okupimira mmwe.
9
MATAYO 7:26
“Ate buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'atabikolerako, aliba ng'omusajja omusirusiru, eyazimba ennyumba ye ku musenyu.
10
MATAYO 7:3-4
Lwaki otunuulira akasubi akali ku liiso lya muganda wo, naye n'otofa ku kisiki ekiri ku liryo? Oba ogamba otya muganda wo nti: ‘Leka nkuggye akasubi ku liiso,’ sso nga ku liiso eriryo kuliko ekisiki?
11
MATAYO 7:15-16
“Mwekuume abalanzi ab'obulimba, abajja gye muli nga kungulu bafaanana ng'endiga, sso nga munda gye misege eminyazi. Mulibategeerera ku bikolwa byabwe. Abantu emizabbibu baginoga ku kawule, oba emitiini baginoga ku busaana?
12
MATAYO 7:17
“Omuti omulungi gubala ebibala birungi, naye omuti omubi gubala ebibala bibi.
13
MATAYO 7:18
Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, n'omuti omubi teguyinza kubala bibala birungi.
14
MATAYO 7:19
Buli muti ogutabala bibala birungi gutemebwa, ne gusuulibwa mu muliro.