1
MATAYO 17:20
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Yesu n'abaddamu nti: “Kubanga temulina kukkiriza kumala. Mazima mbagamba nti: singa muba n'okukkiriza wadde okutono ng'akasigo ka kaladaali, muyinza okugamba olusozi luno nti: ‘Va wano, genda wali,’ ne lugenda, era tewali kiribalema. [
2
MATAYO 17:5
Bwe yali ng'akyayogera, ekire ekitangalijja ne kijja, ne kibabikka n'ekisiikirize kyakyo. Eddoboozi ne lyogerera mu kire ekyo, ne ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, era gwe nsiimira ddala, mumuwulirize.”
3
MATAYO 17:17-18
Yesu n'addamu nti: “Bantu mmwe, ab'omulembe guno ogutalina kukkiriza, era omubi, ndimala nammwe kiseera kyenkana wa nga mbagumiikiriza? Omulenzi mumundeetere wano.” Awo Yesu n'aboggolera omwoyo omubi, ne guva ku mulenzi, n'awona mu kaseera ako.