Okukungubaga 4
4
Ezaabu tekyafaananikika
(4:1-22)
Yerusaalemi kisigadde matongo
1“Zaabu ng'eyonoonese!”
Zaabu ennungi ennyo nnyini nga efuuse!
Amayinja ag'omu kifo ekitukuvu gasaasaanyiziddwa buli luguudo we lutandikira.#Is 1:22
2Batabani ba Sayuuni ab'omuwendo omungi,
omuwendo gwabwe gwenkana zaabu ennungi,
kaakati bayitibwa nsuwa za bbumba,
omulimu gw'emikono gy'omubumbi!#Yer 19:11
3Era n'emisege giggyayo amabeere,
ne giyonsa abaana baagyo,
omuwala w'abantu bange afuuse mukambwe nga bamaaya mu ddungu.
4Olulimi lw'omwana ayonka lwegasse n'ekibuno kye olw'ennyonta;
Abaana abato basaba emmere, so tewali agibabegera.#Zab 22:15
5Abaalyanga emmere ennungi bawuubaalira mu nguudo;
Abaakulira mu ngoye entwakaavu, kati bagalamira mu ntuumu ze vvu.#2 Sam 1:25
6Kubanga obutali butuukirivu bw'omuwala w'abantu bange businga obunene ekibi kya Sodomu,
Ekyasuulibwa mu kaseera akatono,
so nga tewali eyakissaako omukono.#Lub 19:25, Mat 10:15, Yud 7
7Abakungu baali balongoofu, okusinga omuzira,
baali beeru okusinga amata.
Emibiri gyabwe gyasinga amayinja amatwakaavu okumyuka;
baali banyirivu nga safiro.#Kubal 6:2
8Amaaso gaabwe gaasinga ekisiiriza okuddugala;
tebaamanyibwa mu nguudo,
Olususu lwabwe lwerangidde ku magumba gabwe;
lukaze, lufuuse ng'oluku.#Yob 30:30
9Abattiddwa mu lutalo basinga abo abafudde enjala;
Kubanga abo bayongobera nga bafumitiddwa, olw'okubulwa ebibala eby'omu nnimiro bye balya.
10Abakazi ab'andibadde ab'ekisa ekingi, bafumbye abaana baabwe n'emikono gyabwe bo;
Bafuuse kya kulya gyebali mu kuzikirira kw'omuwala w'abantu bange.#Ma 28:57, 2 Bassek 6:29, Is 49:15, Yer 19:9
11Mukama atuukirizza ekiruyi kye,
era afukidde ddala obusungu bwe obukambwe;
Era akumye omuliro mu Sayuuni ogwokezza emisingi gyakyo.#Yer 17:27, Ez 5:13
12Bakabaka b'ensi tebakkiriza, newakubadde abo bonna abatuula mu nsi zonna;
Ng'omulabe, n'oyo abakyawa yandiyinzizza okuyingira mu miryango gy'e Yerusaalemi.#Is 53:1
13Kino kyaliwo lwa bibi bya bannabbi baamu n'obutali butuukirivu bwa bakabona baamu,
Abaayiwa omusaayi gw'abatuukirivu wakati mu kyo.#Yer 5:31
14Bawaba ng'abazibe b'amaaso mu nguudo,
boonoonese n'omusaayi,
N'okuyinza abantu ne batayinza kukwata ku byambalo byabwe.#Kubal 19:16, Is 59:10
15“Muveewo! Temuli balongoofu!” Abantu bwe baabalangira;
“Muveewo! Muveewo! Temukwatako!”
Bwe badduka ne bawaba, abantu ne boogera mu mawanga nti,
“Tebakyaddayo kubeera wano naffe nate.”#Leev 13:45
16Obusungu bwa Mukama bubasaasaanyizza;
era takyabassaako mwoyo,
Bakabona tebakyassibwamu kitiibwa, n'Abakadde tebakyalagibwa kusaasirwa.#Is 24:2
17Amaaso gaffe gaaziba nga tutunuulira okubeerwa kwaffe okutaliiko kye kugasa;
Bwe twalindirira, eggwanga eritayinza naakutulokola.#Yer 3:23; 37:7,8
18Abasajja bacocca ebisinde byaffe,
n'okuyinza ne tutayinza kutambulira mu nguudo zaffe;
Enkomerero yaffe eneetera kutuuka,
ennaku zaffe zituukiridde;
kubanga enkomerero yaffe etuuse.#Ez 7:2,3,6, Am 8:2
19Abatuyigganya basinga empungu ez'omu bbanga embiro;
Batucoccera ku nsozi, baatuteegera mu ddungu.#Yer 4:13, Kaab 1:8
20Omukka ogw'omu nnyindo zaffe,
oyo Mukama gwe yafukako amafuta, yakwatibwa mu bunnya bwabwe;
Gwe twayogerako nti, “Wansi w'ekisiikirize kye tulituula mu mawanga.”#2 Bassek 25:5,6, Kung 2:9, Ez 19:4,8; 31:6,17
21Sanyuka ojaguze, ayi omuwala wa Edomu, abeera mu nsi ya Uzi;
Nammwe gye muli ekikompe gye kiriyisibwa;
olitamiira ne weebikkula.#Yer 25:15,16
22Okubonereza obutali butuukirivu bwo, ayi omuwala wa Sayuuni, kutuukiridde;
Takyakutwala nate mu busibe;
Alibonereza obutali butuukirivu bwo, ayi omuwala wa Edomu;
Alibikkula ebibi byo.#Is 40:2, Ob 10
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.