Ves al contingut

Okukungubaga 3

3
Nze muntu alabye okubonyaabonyezebwa
(3:1-66)
Okubonerezebwa, okwenenya, n'okusuubira
1Nze ndi muntu oyo, eyalaba ennaku wansi w'omuggo ogw'obusungu bwe.#Yer 20:18
2Yantwala n'antambuliza mu kizikiza so si mu musana.#Is 5:30
3Mazima ku nze kwakyusiriza omukono gwe buli kiseera okuzibya obudde.
4Omubiri gwange n'olususu lwange abikadiyizza;
amenye amagumba gange.#Zab 51:8, Is 38:13
5Anzingizizza n'anneetoolooza omususa n'okulumwa.
6Antuuzizza mu bifo eby'ekizikiza ng'abo abaafa edda.#Zab 143:3
7Ankomedde olukomera n'okuyinza ne siyinza kufuluma;
azitoyeza olujegere lwange.#Zab 88:8
8Weewaawo, ne bwe nkaaba ne nkuba enduulu okubeerwa,
aggalira okusaba kwange.#Yob 30:20, Zab 22:2
9Akomedde amakubo gange, n'amayinja amateme,
akyamizza amakubo gange.
10Ali gye ndi ng'eddubu eteega,
ng'empologoma eri mu bifo eby'ekyama.#Kos 13:8
11Akyamizza olugendo lwange, n'antaagulataagula; andesse awo ttayo.
12Anaanudde omutego gwe,
n'anteekawo okuba sabbaawa w'akasaale ke.#Yob 16:12
13Ayingizizza mu mmeeme yange obusaale obuli mu mufuko gwe.#Yob 6:4
14Nfuuse eky'okusekererwa eri abantu bange bonna;
n'oluyimba lwabwe okuzibya obudde.#Yob 30:9, Yer 20:7
15Anzikusizza obubalagaze, annyiyizza ebikaawa.#Yer 9:15
16Aleetedde amannyo gange okumeketa oluyinjayinja, n'okwekulukunya mu vvu.#Nge 20:17, Yer 6:26
17Era wayawula emmeeme yange okuba ewala n'emirembe;
nneerabidde essanyu bwe lifaanana.
18Ne njogera nti, “Ekitiibwa kyange kigenze,
n'okusuubira kwange okuva eri Mukama.”
19Jjukira ennaku zange n'obuyinike bwange, abusinso n'omususa!
20Emmeeme yange ekyabijjukira,
era ekutamye munda yange. 21Nkijjukira ekyo, era kyenvudde mbeera n'okusuubira.
22Kwe kusaasira kwa Mukama, ffe obutamalwawo,
kubanga ekisa kye, tekiggwaawo.#Mal 3:6
23Kiba kiggya buli nkya; obwesigwa bwo bungi.#Zab 36:5
24“Mukama gwe mugabo gwange,”
emmeeme yange bw'eyogera;
“bw'entyo nnasuubiriranga mu ye.”#Zab 16:5
25Mukama aba mulungi eri abo abamulindirira, eri emmeeme emunoonya.#Zab 130:6, Is 30:18
26Kirungi omuntu okusuubiranga n'okulindiriranga obulokozi bwa Mukama ng'agumiikiriza.#Mi 7:7
27Kirungi omuntu okusitula ekikoligo mu buto bwe.#Mub 12:1, Mat 11:29
28Atuule yekka asirike, kubanga abimukwassizza.
29Ateeke akamwa ke mu nfuufu oba nga mpozzi wanaabaawo okusuubira.#Yob 42:6
30Aweeyo ettama lye eri oyo amukuba;
agumire okuvumibwa.#Is 50:6, Mat 5:39
31Kubanga Mukama, talitusuula ennaku zonna.#Zab 103:9
32Kubanga newakubadde ng'aleeta obuyinike,
naye alikwatibwa ekisa, ng'obugazi bw'okusaasira kwe okutuukiridde bwe buli.#Zab 103:8; 106:45
33Kubanga tagenderera kubonyaabonya newakubadde okulumya abaana b'abantu.#Beb 12:6-11
34Okulinnyirira n'ekigere abasibe bonna ab'omu nsi,
35Okukyamya ensonga y'omuntu mu maaso g'oyo ali waggulu ennyo,#Kaab 1:13
36N'okusaliriza mu misango, ebyo Mukama tabisiima.
37Ani oyo ayogera, era ne kituukirira,
okujjako Mukama nga akiragidde?#Nge 19:21
38Mu kamwa k'oyo ali waggulu ennyo, ssi mwe muva ebibi n'ebirungi?#Is 45:7, Am 3:6
39Omuntu omulamu yeemulugunyiza ki,
omuntu okubonerezebwa
olw'ebibi bye?#Nge 19:3
40Tukebere tukeme emitima gyaffe,
tukyukire nate eri Mukama.#Yo 2:12,13
41Tuyimuse emitima gyaffe wamu n'emikono gyaffe eri Katonda mu ggulu,#Zab 25:1
42“Tusobezza, era tujeemye; era naawe tosonyiye.”#Dan 9:5
43“Webisse obusungu, n'otuyigganya; osse so tosaasidde.”
44Weebisseeko ekire, okusaba kwaffe kuleme okukutuukako.
45Otufudde ng'empitambi, n'ebisasiro wakati mu mawanga.#1 Kol 4:13
46Abalabe baffe bonna batwasamidde nnyo akamwa kaabwe.
47Entiisa, n'obunnya bitutuuseeko, okunyagibwa n'okuzikirira.#Is 24:17; 51:19
48Amaaso gange gakulukusa emigga egy'amaziga, olw'okuzikirira kw'abantu bange.
49Amaaso gange gatonnya, amaziga gange ganaakulukuta obutalekaayo, tegakalira n'akatono.
50Okutuusa Mukama lw'anaatunula wansi n'alaba ng'asinziira mu ggulu.#Is 63:15
51Amaaso gange gandetera okunakuwala olw'ebyo ebituuse ku bawala bonna ab'ekibuga kyange.
52“Bancoccedde ddala nnyo ng'ennyonyi,”
abo abafuuka abalabe bange awatali nsonga.
53Bankasuka nga ndi mulamu mu bunnya, era bansuddeko amayinja.#Yer 38:6,9,10
54Amazzi gaakulukuta, nga gayita ku mutwe gwange;
“ne njogera nti, ‘Mmaliddwawo’”#Zab 69:2; 88:5, Ez 37:11
55Nnakaabira erinnya lyo, ayi Mukama,
nga nsinziira ku ntobo y'obunnya eyo wansi ennyo.#Zab 130:1,2
56N'owulira eddoboozi lyange;
toziba kutu kwo eri okukaaba kwange okw'okuyambibwa.
57Wansemberera ku lunaku kwe nnakukaabirirako;
n'oyogera nti, Totya.#Yos 1:9, Yak 4:8
58Ayi Mukama, wawoza ensonga ez'emmeeme yange;
wanunula obulamu bwange.#Zab 119:154
59Ayi Mukama, olabye okujoogebwa kwange; nsalira omusango.#Zab 35:22,23
60Olabye eggwanga lyonna lye bampalanako, n'enkwe zonna ze bansalira.#Yer 11:19
61Owulidde okuvuma kwabwe, ayi Mukama,
n'enkwe zonna ze bansalira;
62Emimwa n'ebirowoozo by'abo abaagala okunzita bangigganya okuzibya obudde.
63Tunuulira okutuula kwabwe n'okuyimuka kwabwe;
nze ndi luyimba lwabwe.#Zab 139:2
64Olibasasula empeera, ayi Mukama, ng'omulimu bwe guli ogw'emikono gyabwe.#Zab 28:4, 2 Tim 4:14
65Olibawa omutima ogukakanyadde, ekikolimo kyo kiriba kubo.#Yer 10:11
66Olibayigganya n'obusungu, n'obazikiriza okuva wansi w'eggulu lya Mukama.