Abaefeso 6
6
Abaana n'Abazadde mu maka
1Abaana abato, muwulirenga abazadde bammwe mu Mukama waffe, kubanga kino kye kituufu. #Bak 3:20 2“Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko” (lye tteeka ery'olubereberye eririmu okusuubiza), 3“olyoke obeerenga bulungi, era owangaalenga ennaku nnyingi ku nsi.”#Ma 5:16 4Nammwe, bakitaabwe, temusunguwazanga baana bammwe, naye mubalerenga mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe.#Bak 3:21, Is 50:5, Nge 2:2; 3:11; 19:18, Ma 6:7,20-25, Zab 78:4
Abaddu ne bakama baabwe
5Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab'omubiri nga mulina okutya n'okukankana, omutima gwammwe nga teguliimu bukuusa, nga Kristo;#Bak 3:22-25, Tit 2:9,10, 1 Peet 2:18 6si nga mu kuweereza okw'okungulu, ng'abaagala okusiimibwanga abantu; naye ng'abaddu ba Kristo, nga mukolanga n'omwoyo Katonda by'ayagala. 7Muweerezenga n'okwagala, ng'abaweereza Mukama waffe so si bantu; 8nga mumanyi nti buli muntu ekirungi ky'akola, ky'aliweebwa nate eri Mukama waffe, oba muddu oba wa ddembe.#2 Kol 5:10 9Nammwe, bakama baabwe, mubakolenga bwe mutyo, nga mulekanga okutiisa, nga mumanyi nga Mukama waabwe era owammwe ali mu ggulu, so tewali kusosola mu bantu gy'ali.#Bak 4:1, 2 Byom 19:7, Bik 10:34
Eby'okulwanyisa byonna ebya Katonda
(6:10-20)
10Eky'enkomerero, mubenga n'amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw'amaanyi ge.#1 Kol 16:13, 1 Yok 2:14 11Mwambalenga eby'okulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani.#Bef 4:14, 2 Kol 10:4 12Kubanga tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula n'abaamasaza, n'ab'obuyinza, n'abafuga ensi ab'omu kizikiza kino, n'emyoyo egy'obubi mu bifo ebya waggulu.#Bef 2:2, Yok 14:30, Bak 1:13, 1 Peet 5:8,9 13Kale mutwalenga eby'okulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuguma ku lunaku olubi, era bwe mulimala okukola byonna, musobole okuyimirira.#1 Bassek 20:11 14Kale muyimirirenga, nga mwesibye mu kiwato kyammwe amazima, era nga mwambadde eky'omu kifuba obutuukirivu,#Is 11:5; 59:17, Luk 12:35, 1 Peet 1:13, 1 Bas 5:8 15era nga munaanise mu bigere okweteekateeka okw'Enjiri ey'emirembe.#Is 52:7; 40:3,9 16Era ku ebyo byonna nga mukwatiddeko engabo ey'okukkiriza, eneebayinzisanga okuzikiza obusaale bwonna obw'omuliro obw'omubi.#1 Peet 5:9, 1 Yok 5:4 17Muweebwe ne sseppewo ey'obulokozi, n'ekitala eky'Omwoyo, kye kigambo kya Katonda.#1 Bas 5:8, Kos 6:5, Is 11:4; 49:2; 51:16 18Musabenga buli kiseera mu Mwoyo n'okusaba n'okwegayiriranga kwonna. Mutunulenga n'okugumiikiriza nga musabiranga abatukuvu#6:18 Abatukuvu Bano be bakkiriza mu Kristo. Awamu bayitibwa Ab'oluganda oba Abakristaayo. bonna. #Mat 26:41, Bak 4:2,3 19Nange munsabire buli lwenayasamyanga akamwa kange ndyoke mpeebwe okwogeranga, n'okutegeezanga n'obuvumu ekyama eky'Enjiri. #Bak 4:3, 2 Bas 3:1, Bik 4:29 20Eyo nze gye mbeerera omubaka waayo mu lujegere; njogerenga n'obuvumu nga bwe kiŋŋwanira okwogeranga.#2 Kol 5:20, Bak 4:4
Okumaliriza
(6:21-24)
21Naye nammwe mulyoke mutegeere ebifa gye ndi bwe biri, Tukiko, ow'oluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa mu Mukama waffe alibategeeza byonna.#Bik 20:4, Bak 4:7 22Mmutumye gye muli olw'ensonga eno, mulyoke mutegeere ebifa gyetuli, era asanyuse emitima gyammwe. #Bak 4:7,8
23Emirembe gibenga eri ab'oluganda, n'okwagala awamu n'okukkiriza ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo. 24Ekisa kibeerenga n'abo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo n'okwagala obutaggwaawo. #1 Peet 1:8
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.