Ves al contingut

Abaefeso 5

5
Okuva mu bulamu obw'ekizikiza
(5:1-20)
1Kale mufaananenga Katonda, ng'abaana abaagalwa;#Mat 5:48, Bak 3:12 2era mutambulirenga mu kwagala, era nga Kristo bwe yabaagala mmwe, ne yeewaayo ku lwaffe okubeera ekirabo eky'evvumbe eriwunya obulungi era ssaddaaka eri Katonda. #Bag 2:20, Beb 10:10, Bak 3:13, Zab 40:6, Kuv 29:18, Ez 20:41 3Naye obwenzi n'obugwagwa bwonna n'okwegomba n'okwogerebwa tebyogerebwangako mu mmwe, kubanga ebyo tebigwanira batukuvu. #Bef 4:19, Bak 3:5 4Tewaabeerangawo eby'ensonyi, newakubadde ebinyumizibwa eby'obusiru, newakubadde okubalaata, ebitasaana, naye waakiri wabeerengawo okwebazanga.#Bef 4:29, Bak 3:8 5Kubanga ekyo mukitegeerera ddala nga tewali mwenzi, oba mugwagwa, oba eyeegomba, ye oyo asinza ebifaananyi, alina obusika mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda.#1 Kol 6:9,10, Bak 3:5, Bik 8:21 6Omuntu yenna tabalimbanga n'ebigambo ebitaliimu, kubanga olw'ebyo obusungu bwa Katonda bujja ku baana abatawulira.#Bar 1:18, Bak 2:4,8 7Kale temussanga kimu nabo; 8kubanga edda mwali kizikiza, naye kaakano muli musana mu Mukama waffe, mutambulenga ng'abaana b'omusana#Bef 5:11,13, Luk 16:8, 1 Peet 2:9, Yok 12:36 9(kubanga ebibala by'omusana biri mu bulungi bwonna n'obutuukirivu n'amazima), 10nga mukeberanga Mukama waffe ky'ayagala bwe kiri.#Bar 12:2 11Temussanga kimu n'ebikolwa ebitabala eby'ekizikiza, naye waakiri mubibuulirirenga bubuulirizi;#Yok 16:8 12kubanga kya nsonyi n'okubyogerako ebyo bye bakola mu kyama.#Bar 1:24 13Naye ebigambo byonna, bwe bibuulirirwa, omusana gubirabisa, kubanga buli ekirabisibwa gwe musana.#Yok 3:20,21 14Kyava ayogera nti, “Zuukuka, ggwe eyeebase, ozuukire mu bafu, Kristo anaakwakira.”#Is 26:19; 60:1, Bar 13:11; 6:13
Okujjuzibwanga Omwoyo
15Kale mutunule nnyo bwe mutambulanga, si ng'abatalina magezi, naye ng'abalina amagezi;#Mat 10:16, Bak 4:5 16nga mweguliranga ebbanga, kubanga ennaku zino mbi. 17Kale temubeeranga basirusiru, naye mutegeerenga Mukama waffe ky'ayagala bwe kiri.#Bar 12:2 18So temutamiiranga mwenge, kubanga mu gwo mulimu okwegayaggula, naye mujjulenga Omwoyo;#Nge 23:31, Luk 21:34 19nga mwogereganyanga mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbanga, nga mumukubiranga ennanga mu mutima gwammwe Mukama waffe.#Bak 3:16, Zab 33:2,3 20Mwebazanga Katonda Kitaffe ennaku zonna olwa byonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.#Bak 3:17
Obulamu obutukuvu obw'obufumbo
(5:21—6:9)
Obuvunaanyizibwa bw'omukazi mu bufumbo
21Muwuliraganenga olw'okussamu Kristo ekitiibwa. #1 Peet 5:5 22Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe.#Lub 3:16, Bak 3:18, 1 Peet 3:1 23Kubanga omusajja gwe mutwe gwa mukazi we, era nga Kristo bw'ali omutwe gw'ekkanisa, omubiri gwe, era nga ye yennyini ye mulokozi waayo. #1 Kol 11:3, Bak 1:18 24Naye ng'ekkanisa bw'ewulira Kristo, n'abakazi bwe batyo bawulirenga babbaabwe mu buli kigambo.
Obuvunaazibwa bw'omusajja mu bufumbo
25Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo;#Bak 3:19 26alyoke agitukuze ng'amaze okugirongoosa n'okuginaaza n'amazzi mu kigambo.#Tit 3:5 27Alyoke agyereetere yennyini ekkanisa ey'ekitiibwa, nga terina bbala newakubadde olufunyiro newakubadde kyonna ekifaanana nga bino; naye ebeere entukuvu, eteriiko bulema.#Zab 45:13, 2 Kol 11:2 28Era bwe kibagwanidde bwe kityo abasajja okwagalanga bakazi baabwe bennyini ng'emibiri gyabwe bennyini. Ayagala mukazi we yennyini, yeeyagala yekka. 29Kubanga tewali muntu eyali akyaye omubiri gwe yennyini, naye aguliisa agujjanjaba, era nga Kristo bw'ajjanjaba ekkanisa; 30kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe.#Bef 1:23, 1 Kol 6:15, Lub 2:23 31Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu.#Lub 2:24 32Ekyama kino kikulu, naye njogera ku Kristo n'ekkanisa.#Kub 19:7 33Naye era nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yekka; n'omukazi assengamu bba ekitiibwa.