Ves al contingut

Abaefeso 2

2
Tulokoka lwa kisa lwa kukkiriza
(2:1-10)
Mu Kristo tufuusibwa abalamu
1Era nammwe yabazuukiza bwe mwali nga mufiiridde mu byonoono n'ebibi byammwe,#Bef 2:5, Bak 2:13 2bye mwatambulirangamu edda ng'emirembe egy'ensi eno bwe giri, okugobereranga omukulu w'obuyinza obw'omu bbanga, omwoyo ogukola kaakano mu baana abajeemu. #Bef 6:12, Tit 3:3, Yok 12:31, Bak 1:13 3Naffe fenna abo be twatambulirangamu edda mu kwegomba kw'omubiri gwaffe, nga tukolanga omubiri n'ebirowoozo bye byagala, ne tubeeranga olw'obuzaaliranwa abaana b'obusungu, nga n'abalala.#Bak 3:6 4Naye Katonda, kubanga ye mugagga w'ekisa, olw'okwagala kwe okungi kwe yatwagala ffe, 5bwe twali nga tufiiridde mu byonoono byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo (mwalokoka lwa kisa),#Luk 15:24,32, Bef 5:14, Bar 6:13 6n'atuzuukiza wamu naye, n'atutuuza wamu naye mu bifo eby'omu ggulu mu Kristo Yesu.#Bar 8:10, Baf 3:20
Ekisa kituleetera obulokozi
7Bwatyo mu mirembe egigenda okujja alyoke alage obugagga obusinga ennyo obw'ekisa kye mu bulungi obuli gyetuli mu Kristo Yesu.#Bef 1:7 8Kubanga mwalokoka lwa kisa lwa kukkiriza; so tekwava gye muli, kye kirabo kya Katonda,#Bag 2:16 9tekwava mu bikolwa, omuntu yenna aleme okwenyumirizanga.#1 Kol 1:29 10Kubanga ffe tuli mulimu gwe, abaatonderwa mu Kristo Yesu olw'ebikolwa ebirungi, Katonda bye yasooka okuteekateeka ffe okubitambulirangamu.#Tit 2:14
Obumu n'emirembe mu Kristo
(2:11-22)
11Kale mujjukire ng'edda mmwe, abaali ab'amawanga mu mubiri, Abakomole be bayita Abataakomolebwa, mu mubiri okukolebwa n'emikono;#Bef 5:8 12nga mu biro biri mwali nga muli wala ne Kristo, mwali nga mubooleddwa mu kika kya Isiraeri, era mwali bannamawanga eri endagaano ez'okusuubiza, nga temulina kusuubira, nga temulina Katonda mu nsi.#Bar 9:4, 1 Bas 4:13 13Naye kaakano mu Kristo Yesu mmwe abaali ewala edda musembezebwa olw'omusaayi gwa Kristo.#Is 57:19; 52:7, Bak 1:20 14Kubanga ye gye mirembe gyaffe, eyafuula byombi ekimu, n'amenyawo ekisenge ekya wakati ekyawula,#Is 9:6, Bag 3:28, Bak 2:14 15bwe yamala okuggyawo mu mubiri gwe obulabe, obwali ku bipande eby'ebiragiro n'amateeka; alyoke atonde omuntu omuggya mu kifo kyebyo byombi, okuleeta emirembe.#2 Kol 5:17, 1 Kol 1:21; 2:13 16Era alyoke atabaganye byombi eri Katonda mu mubiri gumu olw'omusalaba, bwe yattira obulabe ku gwo. 17N'ajja n'ababuulira emirembe mmwe abaali ewala, era n'emirembe abo abaali okumpi; 18kubanga ku bw'oyo naffe tusobola okusembera eri Kitaffe mu Mwoyo omu. 19Kale bwe mutyo temukyali bannamawanga na bayise, naye muli ba kika kimu n'abatukuvu, era ba mu nnyumba ya Katonda.#Bef 3:6, Beb 12:22,23 20Kubanga mwazimbibwa ku musingi gw'abatume ne bannabbi, Kristo Yesu yennyini nga lye jjinja eddene ery'oku nsonda.#Mat 16:18, Is 28:16 21Mu ye buli nnyumba yonna, bw'egattibwa obulungi, ekula okubeeranga Yeekaalu entukuvu mu Mukama waffe;#Bak 2:19 22era mu ye nammwe muzimbibwa wamu okubeeranga ekisulo kya Katonda mu Mwoyo.#1 Peet 2:5