Abaefeso 1
1
Ennyanjula
(1:1-23)
Okulamusa abawandiikirwa ebbaluwa
1Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, eri abatukuvu abali mu Efeso n'abakkiriza mu Kristo Yesu.#Bar 1:7, Bak 1:1, 1 Kol 1:2 2Ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo. #Bak 1:2
Okwebaza
3Yeebazibwe Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuweera mu Kristo buli mukisa gwonna ogw'Omwoyo oguva mu bifo eby'omu ggulu; #Bef 2:6 4Kubanga yatulondera mu ye ng'ensi tennaba kutondebwa, ffe okubeera abatukuvu era abatalina kyakunnenyezebwa. #Yok 15:16; 17:24, Bef 5:27 5Yatwawula edda mu kwagala okubeera abaana be okuyita mu Yesu Kristo, nga bwe yasiima olw'okuteesa kwe,#Bar 8:29, Yok 1:12 6ekitiibwa eky'ekisa kye kiryoke kitenderezebwenga, kye yatuwa obuwa mu oyo Omwagalwa. #Mat 3:17, Bak 1:13 7Mu ye tulina okununulibwa okuyita mu musaayi gwe, okusonyiyibwa ebyonoono byaffe, ng'obugagga obw'ekisa kye bwe buli,#Bak 1:14,20, Bef 2:7; 3:8,16 8kye yasukkiriza gyetuli mu magezi gonna n'okutegeera kwonna.#Bak 1:9 9Kubanga yatumanyisa mu magezi n'okutegeera ekyama eky'okwagala kwe, nga bwe yasiima yekka, okusinziira ku nteekateeka ze yategeka edda mu Kristo. #Bef 3:9, Bar 16:25 10Entegeka ezatuukirira mu kiseera kyazo, okugattira awamu ebintu byonna mu Kristo, ebiri mu ggulu n'ebiri ku nsi.#Bak 4:4, Bak 1:16 11Mu oyo naffe mwe twafuukira abasika, bwe twayawulibwa edda mu kumalirira kw'oyo akola byonna nga bw'ayagala mu kuteesa kwe.#Bak 1:12, Bar 8:28 12Ffe abaasooka okusuubira mu Kristo, twategekebwa n'okulondebwa tulyoke tubeerewo olw'okutendereza ekitiibwa kye. 13Mu oyo nammwe, abawulira ekigambo eky'amazima, Enjiri ey'obulokozi n'okukkiriza bwe mwakkiriza, mwateekebwako envumbo ey'Omwoyo Omutukuvu eyasuubizibwa.#Bef 4:30, Bak 1:5,6 14Oyo gwe musingo gw'obusika bwaffe, okutuusa envuma ya Katonda lw'erinunulibwa, ekitiibwa kye kitenderezebwe.#2 Kol 1:22; 5:5
15Bwe nnawulira okukkiriza Mukama waffe Yesu okuli mu mmwe, n'okwagala kwe mulaga abatukuvu bonna,#Bak 1:4,9 16kyenva sirekangayo kwebaza, nga mboogerako mu kusaba kwange.#Bak 1:3 17Nsaba Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow'ekitiibwa, abawe omwoyo ogw'amagezi n'ogw'okubikkulirwa mu kumutegeera ye.#Bak 1:10 18Emyoyo gyammwe bwe gibikkulibwa mulyoke mumanye essuubi ery'okuyita kwe bwe liri, n'obugagga obw'ekitiibwa eky'obusika bwe mu batukuvu bwe buli. #Ma 33:3,4, Bak 1:5,11,12,27 19Era n'obukulu obw'amaanyi ge agasinga ennyo eri ffe abakkiriza bwe buli, ng'obuyinza bw'amaanyi ge bwe bukola.#2 Kol 13:4, Bak 1:11; 2:12 20Ago ge yakozesa mu Kristo, bwe yamuzuukiza okuva mu bafu, n'amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo mu bifo eby'omu ggulu,#Zab 110:1 21waggulu ennyo okusinga okufuga kwonna n'obuyinza n'amaanyi n'obwami na buli linnya eryatulwa si mu mirembe gino gyokka naye ne mu egyo egigenda okujja.#Bak 1:16; 2:10 22N'ateeka byonna wansi w'ebigere bye, n'amuteekawo okuba omutwe ku byonna eri ekkanisa,#Zab 8:6, Mat 28:18, Bef 4:15, Bak 1:18 23gwe mubiri gwe, okutuukirira ku oyo atuukiriza byonna mu byonna.#Bar 12:5, Bak 1:19, 1 Kol 12:27, Bef 4:10
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.