2 Ekyebyomumirembe 23
23
Kabaka Yowaasi
(23:1—24:27)
1Awo mu mwaka ogw'omusanvu Yekoyaada naakozesa obuyinza bwe, n'akola endagaano n'abaduumizi ab'ebibinja by'ekikumi; Azaliya mutabani wa Yerokamu, Isimaeri mutabani wa Yekokanani, Azaliya mutabani wa Obedi, Maaseya mutabani wa Adaya, ne Erisafaati mutabani wa Zikuli.#2 Bassek 11:4-20 2Awo ne bagenda mu Yuda yonna ne bakuŋŋaanya Abaleevi okuva mu bibuga byonna ebya Yuda, n'abakulu be bika bya Isiraeri, ne bajja nabo e Yerusaalemi. 3Ekibiina kyonna ne balagaana endagaano ne kabaka mu nnyumba ya Katonda. Awo Yekoyaada n'abagamba nti, “mutabani wa kabaka, yaba afuuka kabaka, nga Mukama bwe yasuubiza bazzukulu ba Dawudi.#2 Byom 6:16 4Kino kye munaakola: kimu kya kusatu ku mmwe bakabona n'Abaleevi, abanaabeeranga ku luwalo ku Ssabbiiti, munaakumanga emiryango gya Yeekaalu. 5Ate kimu kya kusatu ekirala munaakuumanga ennyumba ya kabaka, n'ekimu eky'okusatu ekirala munaakuumanga omulyango ogw'omusingi. Abantu bonna banaabeeranga mu luggya lwa Yeekaalu. 6Tewaabenga muntu yenna ayingira mu nnyumba ya Mukama, okuggyako bakabona n'Abaleevi abanaabeeranga ku luwalo, abo banaayingiranga, kubanga batukuvu: naye abantu abalala bonna bakwate ekiragiro kya Mukama, basigale ebweru.#1 Byom 23:27,29 7Era Abaleevi banaayimiriranga nga beebunguludde kabaka, buli muntu ng'akutte eby'okulwanyisa bye, na buli anaayingiranga mu Yeekaalu wa kuttibwanga. Mubeere kumpi nnyo ne kabaka, buli gy'anaagendanga.” 8Awo Abaleevi na bantu ba Yuda bonna, ne bakola nga Yekoyaada kabona bwe yabalagira. Buli muduumizi n'atwala basajja be abaali bayingira okukola, wamu n'abo abaali bannyuka ku Ssabbiiti, kubanga Yekoyaada kabona teyasiibula baali bamaze oluwalo lwabwe ku Ssabbiiti. 9Awo Yekoyaada kabona n'awa abaduumizi ab'ekikumi, amafumu, engabo ennene n'entono, ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu nnyumba ya Katonda. 10Era n'ateeketeeka abantu bonna okukuuma kabaka, buli muntu ng'akutte eky'okulwanyisa kye, nga beetoolodde kabaka, ekyoto, ne Yeekaalu, okuva ku bukiikaddyo, okutuuka ku bukiikakkono, obwa Yeekaalu. 11Awo n'afulumya omwana wa kabaka n'amutikira engule ey'obwakabaka ku mutwe, n'amukwasa ekiwandiiko ekirimu amateeka agafuga obwakabaka. Bwatyo n'afuulibwa kabaka, Yekoyaada ne batabani be ne bamufukako amafuta, ne bagamba nti, “ Kabaka abe mulamu.”#Ma 17:18,19, 1 Sam 10:24 12Awo Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw'abantu, nga badduka era nga batendereza kabaka, n'ajja eri abantu mu nnyumba ya Mukama: 13Bwe yatuuka bw'ati nnalaba kabaka ng'ayimiridde okuliraana empagi ye ku mulyango, n'abakungu n'abafuuwa amakkondeere nga bayimiridde okumwetooloola, era nga n'abantu bonna ab'ensi nga basanyuka nga bafuuwa amakkondeere, n'abayimbi nabo nga bakuba ebivuga byabwe, nga bakulembera ennyimba okutendereza. Awo Asaliya n'ayuza ebyambalo bye n'agamba nti, “Bujeemu, bujeemu.” 14Awo Yekoyaada kabona n'ayita abaduumizi b'ebibinja by'ekikumi, n'abagamba nti, “Temumuttira mu nnyumba ya Mukama, mumufulumye nga mumuyisa wakati mu nnyiriri. Buli anaamugoberera okumutaasa mu mutte.” 15Ne bamukwata, ne bamutwala mu lubiri, ne bamuttira eyo, ku Mulyango gw'Embalasi.
16Awo Yekoyaada n'akola endagaano nga yeegasse wamu n'abantu bonna ne kabaka, nti banabeerenga abantu ba Mukama. 17Awo abantu bonna ne bagenda awali essabo lya Baali, ne balimenyerawo ddala, ebyoto bye n'ebifaananyi bye ne babimenyaamenya, era ne battira Matani, kabona wa Baali, mu maaso g'ebyoto.#Ma 13:9 18Awo Yekoyaada omulimu gw'okulabiriranga Yeekaalu ya Mukama, n'agukwasa bakabona n'Abaleevi, Dawudi be yateekawo mu nnyumba ya Mukama okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, nga bakola basanyuka era nga bayimba, nga Dawudi bwe yalagira.#Kubal 28:2, 1 Byom 23:6,30,31; 24:1 19Yekoyaada era n'ateekawo abaggazi ku miryango gy'ennyumba ya Mukama, walemenga kuyingiramu omuntu atali mulongoofu.#1 Byom 26:1-19 20Awo n'ayita abaduumizi be bibinja by'ekikumi, n'abakungu, n'abakulembeze b'abantu, n'abantu bonna ab'omu nsi, ne baggya kabaka mu nnyumba ya Mukama, ne bamutwala mu nnyumba ya kabaka, nga bamuyisa mu kkubo ery'omulyango ogw'engulu, ne bamutuuza ku ntebe y'obwakabaka. 21Awo abantu bonna ab'omu nsi ne basanyuka, ekibuga ne kitereera, nga Asaliya amaze okuttibwa ne n'ekitala.
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.